Munna mateeka Anthony Wameri y’abadde akulira ebyámateeka mu kibiina kyNational Unity Platform, era ng’abadde avumirira ekya bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya obutaweebwa mukisa kukuba nkungaana zituusa bubaka obuwa essuubi eri abantu.
Anthony Wameri afiiridde mu America gy’abadde amaze ebbanga erisoba mu mwaka omulamba ng’ajanjabibwa.
Okuva akalulu ka 2021 lwekakomekerezebwa abadde atawanyizibwa ekirwadde kya Kokolo wómulubuto ng’ekirwadde kino kyekumugye mu bulamu bwensi.
Abadde mulwanirizi wa ddembe lyábuntu era nga abadde awakanya ekya kooti zámagye okuwozesa abantu babulijjo,nókuvumirira ekiwamba bantu.
Ajukirwa nyo okulwanirira etteeka erya Human Rights Enforcement act 2019 erivumirira abatyoboola eddembe ly’obuntu.
Kampuni ye eyámateeka eya Wameli and Company Advocates yalwana nyo okulaba ng’etteeka lino liteekebwa mu kyapa.
Omwogezi wékibiina kya NUP Joel Ssenyonyi agambye nti ekibiina kifiridwa omuntu abadde alwana okulaba nga kooti mu ggwanga zibeera nómugongo nga tezikolera ku biragiro bya bannabyabufuzi.
Wameri wafiiridde ng’ebikolwa by’okuwamba abantu bikyase nnyo naddala abawagizi ba NUP, okuwozeseza abantu ba bulijjo mu kooti z’amagye wadde nga kooti etaputa ssemateeka yakiyimiriza n’ensonga endal nnyingi ezigenda mu maaso mu ggwanga
Bisakiddwa: Sharif Lukenge