Embaga ya Kyabazinga William Gabula Nadiope IV ne Ihnebantu Jovia Mutesi nga 18 Novemver,2023.
Bagattiddwa mul utikko ya Christ Cathedrale Bugembe mu district ye Jinja.
Abantu babagabulidde mu lubiri lwe Igenge Jinja
Kyabazinga ne Ihnebantu mu bifaananti byebasoose okwekubya nga tebanagattibwa
Taata wa Ihnebantu Stanley Bayoole yaamutuusizza mu Lutikko gyágattiddwa ne Kyabazinga mu bufumbo obutukuvu.
Abagole bagattiddwa Ssaabalabirizi Dr.Stephen Kazimba Mugalu.
Nnabagereka Sylivia Naginda yaajulidde abagole,ngássa omukono ku bbaluwa ebaweereddwa ekkanisa ekakasa bufumbo bwabwe obutukuvu.
(Okuva ku kkono) Ihnebantu Jovia Mutesi, Nnabagereka Sylivia Naginda, Maama wómukama wé Tooro Best Kemigisha Akiiki ne Omugo Margret Karunga, saako bazadde ba Ihnebantu abakulembeddwamu taata Stanley Bayoole nómukyala.
President Yoweri Kaguta Museven akiikiriddwa omumyuka we Rtd.Maj.Jesca Alupo,era amutisse obubaka nga yebaza Kyabazinga okufaayo násoma era náfuuka omuntu owómugaso,ntikubanga bazadde be webaafiira baamuleka akyali mwana muto. Atonedde abagole ente 20.
Abaaliko abamyuka ba presidentokuli EdwardKiwanuka Ssekandi ne Specioza Wandera Kazibwe,wamu néyali sipiika Rebecca Alitwala Kadaga nabo betabye ku mbaga eno.
Omumyuka wa sipiika wa parliament ThomasTayebwa nómukyala,wamu ne sipiika wa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule,ssaabawolereza wa Buganda Owek.Christopher Bwanika, Owek.Hamis Kakomo,Owek.Noah Kiyimba,nómukubiriza wólukiiko lwábataka abóbusolya Omutaka Augustine Mutumba n’abalala
Abakulembeze béddiini okuva mu nzikiriza ezénjawulo, bannabyabufuzi nábantu abenjawulo betabye ku mbaga eno ey’eyafaayo.