Omukutu gw’Ebyempuliziganya ogwa MTN Uganda nga guli wamu n’ebitongole ebitakabanira embeera z’Abaana gudduukiridde essomero lya government n’ebintu ebikozesebwa mu kutumbula tekinologiya mu masomero , okusobozesa abayizi okumanya enkozesa y’ebyuuma bikalimagezi.
Mu ntekateeka etuumiddwa MTN Yellow Care, essomero lya government erya Kansanga SEED secondary school, liweereddwa computer 20 nga ziyungiddwa ku Internet, okwanguyizaako abayizi okunoonyereza ku bisomesebwa naddala ebyobwooleke
Ssenkulu wa MTN Uganda Sylvia Mulinge, agambye nti enteekateeka eno egendereddwamu okubunyisa obuweereza mu masomero agali mu bitundu ebiri mu masoso g’ebyalo.
Mu ntekateeka yeemu abayizi abawala ku Kansanga SEED secondary school batendekeddwa okukola Obuwero obubakuuma nga bayonjo mu nnaku zaabwe ez’Ensonga, okubasobozesa okusigala nga basoma.
Mu masomero amalala agaganyuddwa mu ntekateeka yeemu kuliko St. Joseph’s Aid Society Kyankwanzi District, Ongongoja Secondary School e Katakwi, Ariwa Secondary School Yumbe, Bishop Dunstan Nsubuga Memorial School ne Nekemeya Seed Secondary School Kalangala District.
Bisakiddwa: Kato Denis