Ministry y’ebyobulamu yatandise okugema abasawo abali ku mwanjo gw’okukwatibwa ekirwadde ky Ebola, kyokka abamu baaganye nga batya eddagala eribaweebwa.
Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna, kyategezezza nti eddagala lino lyakugezesebwa okukakasa oba nga lisobola okutangira ekirwadde kya Ebola naddala akawuka aka Ebola Sudan Strain.
Dr. Diana Kanziira Atwine, omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyobulamu, agamba nti olw’okuba ekirwadde kya Ebola Sudan Strian, kibadde tekirabikangako mu mawanga malala, eddagala erikigema libadde terinaba kuzuulibwa okutuusa lino eryaleeteddwa.
Dr. Atwine awanjagidde abantu abali mu bwerinde bwokukwatibwa Ebola okujjumbira okugemebwa kuba ly’ekkubo ery’okwetangira ekirwadde okusaasaana ennyo, n’okubakosa.
Bino bijjidde mu kiseera nga ne ministry y’eby’obulamu kyeggye ekakase nti waliwo abantu abalala 2, abaazuliddwamu ekirwadde kya Ebola mu Kampala, era nga bano baalinako akakwate ku mulwadde eyasooka okufa ekirwadde kino eyali omusawo mu ddwaliro e Mulago.#