Ministry ya ssemateeka n’essiga eddamuzi yetaaga obukadde bwa shs 115 ezigenda okukozesebwa okusomesa abakozi baayo enkozesa y’obupiira bu kalimpitawa.
Abakungu okuva mu ministry ya ssemateeka n’essiga eddamuzi abakulembeddwamu minister Nobert Mao, basisinkanye akakiiko ka parliament ak’ebyamateeka, bwebabadde bagenze Okulambulula ku mbalirira yaabwe ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2025/26 nga eno ya buwumbi 201 n’obukadde 710.
Mukweneneenya embalirira eno ababaka gyebagwiridde ku bukadde 115 ministry ya ssemateeka zeyeetaaga nga zino zaakukozesebwa okusomesa abakozi baayo ku nkozesa y’obupiira bukalimpitawa.
Okusinziira ku kiwandiiko minisstry ya ssemateeka ky’ereese olupupapula 146, lwoleka buteteevu omutemwa gw’ensimbi guno.
Ababaka abatuula ku kakiiko kano abakulembeddwamu omubaka Jonathan Odur ne Abdu katuntu, okukuba ebituli ku nsimbi zino nekyezigenda okukosezebwa, nga bagamba nti ebintu bingi ebisoobola okusaasanyizibwako ensimbi zino okulwanyisa mukenenya, okusinga okusomesa abakozi ba ministry enkozesa y’obupiira
Wabula minister Mao agambye nti ensimbi zino bazitaddemu nga ministry, okwenyigira mu lutalo olw’okulwanyisa mukenenya eyeyongera entakera.#