Leero ennaku z’omwezi ziri 25 April, 2023 lunaku lwakujjukira n’okwefumiitiriza ku musujja oguleetebwa ensiri.
Emikolo gy’omwaka guno gikwatiddwa mu district ye Bugiri wakati mu kutongoza okugaba obutimba omulundi ogwokuna, era obutimba obukadde 28 n’ekitundu bwebwokugabwa mu Uganda yonna omwaka guno.
Alipoota ya Ministry yebyobulamu egamba nti waliwo district 24 mu Uganda ezirondoolwa nezibaluseemu ekirwadde kino ng’omuwendo gwabalwadde abazuulibwayo gususse ogwomulamuzi, ate ngewalala eddagala mu malwaliro tewakyali.
Ebibalo biraga nti kati, Uganda ekwatta kifo kyakusatu mu nsi yonna okuba n’omuwendo gw’abalwadde kko n’abantu abangi abafa omusujja gw’ensiri.
Mu mwaka oguyise 2022 abantu abasoba mu mitwalo 25,000 bebaafa omusujja gw’ensiri.
Mu Uganda abantu ebitundu 87.7% bebaddukira mu malwaliro okufuna obujjanjabi obusaanidde ku musajja gw’ensiri.
Alipoota eraze nti district 65 tezirina ddagala limala kujjanjjaba musujja gwansiri ssonga kyetaagisa government obuwumbi 1,600 buli mwaka, okujjanjaba n’okutangira omusujja gw’ensiri.
Mu kawefube ono eddwaliro lya Mengo, aba kampuni ekola eddagala eya Quality Chemicals Ltd, (Cipla), nekitongole kya Joint Medical Stores, (JMS), basazeewo okutegeka olusiisira lwebyobulamu okusomesa abantu obulabwe ku musujja gwansiri n’okugujjanjaba.
Ayogerera eddwaliro lya Mengo, Denis Bwanika, agambye nti mukuza olunaku luno olw’omusujja gwensiri, endwadde z’omusujja, okwekebeza puleesa, n’ebirala bisiddwako essira mu bitundu bye Luzira – Bugoloobi.
Dr Patrick Tusiime, avunanyizibwa ku kulwanyisa endwadde ezisiigibwa mu ministry y’eby’obulamu agamba nti wadde Malaria akyeyongera okwegiriisa, nti naye abantu bongedde okutegeera ebifa ku bulwadde buno n’akubiriza abantu okujjumbira okusula mu katimba k’ensiri.
Omuntu akwatiddwa Malaria akuma omuliro ogw’amaanyi mu mubiri, okulumwa omutwe, okusesema, okugwamu amazzi n’obubonero obulala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis