Kyadaaki Government okuyita mu ministry y’ebyobulamu eragidde abasawo abakyagezesebwa oba ba Intern abawera 1901 bagende mu malwaliro gyebalina okugezesebwa batandike okukola okuva nga 03 August 2023.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa ministry y’ebyobulamu, baintern bano bakusasulwanga shs 1000,000/= buli mwezi nga za byansula n’okulya.
Ba Intern 1901 babadde bamaze ebbanga erisoba mu mwaka mulamba nga tebasindikibwa mu malwaliro, nga government egamba nti terina nsimbi zakubasasula.
Embeera eno eviiriddeko ba intern bano okwekalakaasa buli kadde, era.nga n’abasawo abegattira mu kibiina kya Uganda Medical Association babadde bategese okwekalakaasa nga bavumirira ekya government okulagajjalira ba Intern ekibadde kyolekedde okukosa obuweereza obwenjawulo, n’okumalamu ensa omulimu gw’obusawo.#