Kyadaaki emirimu ku ddwaliro eddene erye Kawolo mu district ye Buikwe gizeemu okutambula kinnawadda, oluvanyuma lwa abakulu ku district okuteesegenya n’abasawo abaabadde batandise akediimo kabwe.
Abasawo mu ddwaliro lino bagamba nti bamaze emyezi esatu nga tebasasulwa musaala ekibakaluubirizza obulamu.
Oluvanyuma lw’abasawo bano okuteeka wansi ebikola ennaku 2 eziyise, kyawaliriza ministry y’ebyensimbi okusooka okubasasulako omusaala gwa mwezi gumu, wabula abasawo nebakalambira nti bagala Emensimbi zabwe zonna zimale kugwayo.
Embeera eno yewalirizza abakulu ku district okubade sentebe Kanaabi jimmy, CAO wamu n’abaddukanya eddwaliro okusitukiramu okwevumba akafubo n’abasawo bano okubakkirizisa okudda ku mirimu.
Oluvanyuma lw’akafubo kano abasawo nga bakulembeddwamu Kighoma Felix bakkirizza okuyimiriza akediimo, era nti bakanyiiza okudda ku mirimu ng’abakulu babasuubizza nti ensimbi zabwe ezisigadde bakuzifuna ku nkomerero y’omwezi guno ogwa June.
Haruna wamala nga ye administrator we eddwaliro lino ategezezza nti ensisinkano yabwe n’abakulu ebayambye nnyo okukakkanya abasawo era emirimu negiddamu okutambula.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher