Ddoozi emitwalo 64,800 ez’eddagala eriweweeza siriimu eryali lyabbibwa mu ddwaliro lya government e Kamuli, kooti eragidde liweebwe amalwaliro amalala, lisobole okuganyula abantu abali mu bwetaavu.
Ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’eddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority NDA, kyekyazuula eddagala lino nga lukukusibwa omwaka oguwedde 2024, nekizuulwa nti lyali libbiddwa mu ddwaliro lye Kamuli olw’obulambe obwaliriko.
Abiaz Rwamiri Akulira eky’amawulire mu National Drug Authority ategezeeza nti eddagala lino liweereddwa eddwaliro ekkulu erye Kayunga, gyerijja okuva ligabanyizibwe mu district mukaaga, okuli Luweero, Kayunga, Buikwe, Mukono, Nakasongola, ne Buvuma.
Abatwala ekitongole kya NDA era basabye kooti okutandika okubakirizza eddagala lyebakwata mu bikwekweto byebakola nga likyali lyamutindo baligabire amalwaliro ga government okusinga okulyokya.
Dr. Zaidi Mwondha owa NDA agamba nti mu bikwekweto byebakola bakwata eddagala eriwerako kyokka nebamaliriza nga balyokyezza olwa kooti okulwawo okusala emisango, ekiviirako eddagala lino okufa nga balina kulyokya bwokya.
Kkooti e Makindye yalagidde nti ng’omusango bwegugenda mu maaso, okuvunaana abaali bakukusa eddagala, yalagidde liddizibweyo liweebwe amalwaliro nga terinayitako nnaku.