Kkooti mu Kampala eyisizza ekiragiro nti ekkanisa ya St.Peter’s mu Ndeeba egire ng’esigala ku ttaka kwetudde awatali kutaataganyizibwa, okutuusa ng’omusango gw’obwannanyini ku ttaka lino nga gusaliddwa.
Ekkanisa eno eyali yakamala emyaka 49 ku ttaka kweri, yamenyebwa eyeeyita nnannyini ttaka ayitibwa Dodo, mu mwaka 2020.
Okuva olwo abakristaayo mu Ndeeba babadde basabira mu Weema mu luggya lw’ekkanisa, oluvannyuma lw’okuddukira mu kkooti nga bawakanya ekyokubamenya mu bukyamu,n’okwonoona enyumba ya Katonda
Munna mateeka w’ekkanisa, Mayanja Mpiima agambye nti oluvannyuma lwa kooti okuyisa ekiragiro ekyo nebawa olukusa, bakusigala nga bakyegazaanyiza ku ttaka lino.
Mu ngeri yeemu kkooti esindise omusango gw’ekkanisa eno mu kkooti enkulu guwozebwe bupya ku bwananyini bw’ettaka eryo.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif