Abatuuze abasukka mu 300 ku kyalo Nanseko e Lwabenge mu district y’eKalungu, kooti ebalagidde okwamuka ebibanja kwebamaze ekiseera, lwabutawa busuulu.
Ebibanja ebigobeddwako abatuuze abali eyo mu 300 biri ku ttaka eriwezaako yiika 250.
Nnyini ttaka yaddukira mu kkooti ng’alumiriza nti abasenze bano baagaana okuwa obusuulu, era omusango omugagga gw’aludde ng’awoza n’abatuuze kkooti yagusingisizza abatuuze, era nebalagira balyamuke nga kwotadde n’okuliyirira omugagga agamba nti ye nnannyini ttaka lino.
Abatuuze baddukidde ew’omuwabuzi wa president Vicent Bamulangaki Ssempijja n’omubaka wa government e Kalungu Dr. Paddy Kayondo babasalire amagezi.
Mu lukiiko olutuuziddwa ku kyalo Nanseko abatuuze balumiriza nti enfunda nnyini babadde batuuza enkiiko mu kitundu kyabwe nga bayita nnyinittaka okutuula bagonjoole obuzibu buno kyokka ng’abeebalama.
Abatuuze be Nanseko nga bakulembeddwamu omusumba w’abalokole Lawrence Kabwogere saako Kalema God, Mulumba Mathias n’abatuuze abalala balaajanidde omuwabuzi wa president Vicent Ssempijja okubayambako ku kizibu kyokubagoba ku ttaka era basazeewo bajulire mu musango ogwabasiingisiddwa.
Vicent Bamulangaki Ssempijja saako Rdc wa Kalungu Dr Paddy Kayondo bagumizza abatuuze e Nanseko nga bwebagenda okutuukirira abakwatibwako mu ministry y’ebyettaka, basalire wamu amagezi.
Ssempijja agamba nti bagenda kulwana okulaba nga government egula ettaka lino liddizibwe abatuuze be Nanseko.#
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru