Ministry y’eby’obulamu etongozza omulimu gw’okuzimba ebifo webalongooseza abaana endwadde ezenjawulo, mu malwaliro ga government gonna amanene.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyobulamu, Dr. Diana Kanziira Atwine, y’atongoza omulimu guno, n’agamba nti abakugu mu kitongole kya Kids Operating Room okuva e Bungereza, kyeyamye okukwasizaako Uganda mu kuzimba ebifo bino mu malwaliro 12.
Dr. Diana Atwine, agambye nti bweyagenda mu Bungereza mu 2022 yasisinkana abakugu mu kitongole kya Kids Operating Room, nabasaba okukwasizaako Uganda, nga bagifunira obujjanjabi bw’abaana nebyetaago ebirala.
Agambye nti ekibinja ky’abakugu abagenda okukola ku ddimu lino, batuuse mu Uganda.
Uganda ebadde erina eddwaliro limu ery’eby’ekikugu mu ndwadde z’abaana, erisangibwa Entebbe erimanyiddwa nga Children’s Hospital, kyokka nti nalyo libadde teririna busobozi bumala kukola ku baana bonna.
Dr Atwine agambye nti obuyambi bwabannakyewa ba Kids Operating Room okuva e Bungereza, bwakuyambako n’okusomesa abasawo abalongoosa mu Uganda, nabo okufuna obuguku obwetaagisa mu bujjanjabi bw’abaana.
Bisakiddwa: Ddungu Davis