Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, yebazizza bonna abalina kyebakoze mu kukulakulanya Obuganda Omwaka guno.
Ssenkulu wa Cbs Omukungu Micheal Kawooya Mwebe, atenderezza omutindo okwategekeddwa enkuuka n’ENtanda y`Omwaka guno 2023, era neyebaza buli Alina kyakoze mu nteekateeka zino.
Munna Buddu Ssemaganda Gerald eyeddira Engabi Ensamba, akutte kyakubiri era aweereddwa obukadde bwa shs 3 ne piki piki.
Munna Buddu Bogere Richard eyeddira Ennyange akutte eky`okusatu aweereddwa obukadde bwa shs 2 ne piki piki.
Abazira abalala ababadde mu lwokaano abatuuse mu Lubiri e Mengo abavuganyirizza mu Nkuuka Tobongoota, kuliko Munna Mawokota Nassiwa Prossy eyeddira Engo, Munna Buddu Kayemba Ronald Walugembe eyeddira Empologoma, wamu ne Munna Buddu Bukenya Francis eyedidra Engabi.
Lubuulwa Mark eyeddiraa Empologoma okuva mu Canada, Omuzira mu bazira wabakulu mu Ntanda Diaspora, wamu ne Kamya Andrew eyeddira Embogo okuva e Bungereza omuzira mu bazira ow’abato buli omu aweereddwa ekyapa kye ttaka ne piki piki.#