Ministry ya Kampala yetaaga ensimbi obuwumbi 800 okuddaabiriza n’okuzimba emyaala egituukana n’omutindo, okukendeeza ku mataba aganjaala mu kibuga Kampala buli nkuba lwetonnya.
Abakungu okuva mu ministry ya Kampala nga bakulembeddwamu Minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye ne ssenkulu wa Kampala Sharifah Buzeki batwalidde akakiiko ka Parliament akavunaanyizibwa ku byobuzimbi embaririra yabwe gyebetaaga mu mwaka gwe by’ensimbi ogujja 2025/2026.
Okusinziira ku Ministry ya Kampala betaagayo ne nsimbi ezitalinda obuwumbi 26 okutereeza emyaala egyayonoonese mu nkuba ebadde efuddemba ensangi zino.
Bagamba nti zino singa tezibaweebwa embeera eyinza okwongera okwononeka naddala singa enkuba yeyongera okutonnya.
Ministry eno era eriko ensimbi endala zeeyagala nga kuno kuliko obuwumbi 6.1b ezokuwa bakalondoozi abanalondoola emyaala egikolebwa n’enguudo, ngokwo kwotadde abakugu abebuzibwako ku mulimu gw’okuzimba emyaala kko n’obuwumbi obulala 120 okumaririza enguudo 19 mu Kampala ezikyazimbibwa.
Wabula ababaka okubadde owa Mukono South Fred Kayondo n’omubaka wa Ntoroko, Ibanda Rwemulikye bakubye ebituli mu nteekateeka eno nga bagamba nti parliament nebwewa KCCA obuwumbi n’obuwumbi bw’ensimbi, Kampala tesobola kutereera okutuusa nga bakyusizza plan y’ekibuga .
Bagamba nti abakwasibwa emirimu gy’okudaabiriza ekibuga bakola nkola ya gadibe ngalye ngakino kyekivuddeko enguudo n’emyala okwonooneka mu bwangu.
Ssentebbe w’akakiiko kano era Omubaka wa kazo county Dan Kimosho bano abanenyezza aba KCCA olwobutaba na nteekateeka nnungamu eri ekibuga, nga nokutuusa olwaleero ekibuga kikyatawanyizibwa ebizibu kyamataba.
Kimosho agamba nga akakiiko kaakuddamu okubasisinkana bongere okulaba engeri ensimbi zebetaaga gyezigenda okukozesebwamu.
Bisakiddwa Edith Nabagereka