Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde bannabitone okwewala okuwugulwa amalala mu mirimu gyabwe, olwo baweereze bulungi eggwanga.
Abadde mu Kivulu ky’omuyimbi Spice Diana nga ye Namukwaya Hajarah ekibadde ku Serena Hotel mu Kampala.
Abadde ajaguza okuweza emyaka 10 bukyanga atandika okuyimba, ng’omulimu ogumuwa ensimbi
Katikkiro mungeri eyenjawulo agambye nti Obwakabaka tebugenda kukoowa kulungamya bannabitone, n’okubawagira nga bwebuzze bukola ku balimi b’Emmwanyi, kuba nayo wavaayo ensimbi eziyamba ku nkulaakulana y’Abavubuka.
“Enteekateeka y’ekivvulu kya Spice Diana ebadde nnungi ng’eggyayo ekitiibwa ky’okujaguza emyaka 10, tumwagaliza okwongera okuwangula n’okuganja ayongere okubeera eky’okulabirako eri abayimbi abalala naddala abapya” – Katikkiro Mayiga
Spice Diana yebazizza abawagizibe bonna olwomukwaano , era nasuubiza okusigala nga aweereza eggwanga.
Katikkiro mu Kivulu kino awerekeddwaako minister w’Abavubuka emizannyo n’Ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga, minister w’Amawulire ,Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke,n’Abakungu abalala bangi.
Abayimbi abenjawulo nabo babaddewo okujagulizaako Spice Diana, okuli Meseach Ssemakula, Fik Fameica, Pallaso n’abalala.
Bisakiddwa: Kato Denis