Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde abayimbi ne bannakatemba, okwewala okudibaga ebitone byabwe nga benyigira mu bikolwa eby’effujjo n’eby’obufuzi ebyawula mu bawagizi babwe.
Katikkiro agambye nti okuyimba mulimu gwamaanyi ng guyimirizaawo abantu bangi ddala era gwakitiibwa, ogutasaanye kulinnyirirwa.
Abadde asisinkanye omuyimbi Namukwaya Hajarah amanyiddwa nga Spice Diana, ateekateeka eekivvulu kye ek’okuweza emyaka 10 ng’asanyusa bannauganda, kigenda kubeera ku Serena hotel mu Kampala nga 10 January,2025.
Katikkiro amusuubizza nti wakubaayo mu kivvulu.
Agambye nti ekivvulu kya Spice Diana eky’emyaka 10 kabonero akalaga nti omuyimbi awaddeyo obudde okukuza ekitone kye era n’agutwala ng’omulimu.
“Abayimbi bateekwa okutwala ekitone kyabwe ng’omulimu ate ne bakozesa ensimbi ze bagufunamu okusiga ne mu bintu ebirala eby’enkulaakulana” Katikkiro Mayiga
Katikkiro mu ngeri yeemu avumiridde effujjo eryeyongedde mu bayimbi abamu kyebayita Eggaali , ekiyinza okugoba abantu mu bivvulu.
Mu ngeri eyenjawulo Katikkiro awabudde Patrick Mulwana amanyiddwa nga Alien Skin ne Mayanja Pius ayitibwa pallaso bagende ayogereko gyebali abaluŋamye oba bafune omuntu omulala gwebakkiririzaamu bagonjoole obutakkaanya obwolekedde okuttatana ebitone byabwe.#