Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde eddwaliro ly’abakyala n’abaana erya Mulago Specialised Women and Neonatal Hospital, okulaba engeri emirimu gy’egitambuzibwamu.
Katikkiro abadde ne minister w’Enkulaakulana y’abantu Owek Cotilda Nakate Kikomeko.
Balambuziddwa Dr.Evelyn Nabunnya akulira eddwaliro, n’abasawo abakugu mu biti eby’enjawulo.
Katikkiro abebazizza olw’omulimu n’obuweereza obw’ekikugu eri ba maama n’abaana, nasaba government ereme kukoma kukuzimba bizimbe by’amalwaliro wabula bateekemu n’ebikozesebwa n’abasawo basasulwe bulungi.
“Bannakazadde bwe balabirirwa obulungi nga bali mbuto, abaana babeera balamu n’emitawaana mu maka gibeera mitono” – Katikkiro Mayiga