Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akommyeewo okuva ggwanga lya America ,gyabadde asisinkanidde abantu ba Kabaka abawangaalira mu America ne Canada.
Katikkiro nga yakatuuka ku kisaawe e Ntebbe, ategeezezza nti Obugenyi bwabaddeko mu lukuηaana lwa Buganda Bumu North American Convention bubadde bwa bibala.
Agambye nti asisinkanye abantu ab’ebika byonna omubadde Abavubuka ,era aliko byabategeezezza nabo nebabaako byebamugamba, ebikwaata ku Bwakabaka n’Embeera zaabwe, saako n’abakulembeze abenjawulo.
Katikkiro mu lugendo luno aliko bannamikago mu by’ebyenjigiriza n’Ebyobulamu b’asisinkanye, era nga entegeeregana zitandise okubagibwawo, okwongera okusitula Obwakabaka.
Katikkiro mu lugendo luno yawerekerwako Omumyuuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda Owek Robert Wagwa Nsibirwa, minister wa gavumenti ezebitundu Owek Joseph Kawuki, Owek Noah Kiyimba,Owek Mariam Mayanja, Owek Haji Mutaasa Kafeero, Abataka abakulu b’Obusolya n’abakiise ku Lukiiko lwa Buganda Twezimbe.
Bisakiddwa: Kato Denis