Mukawefube owookutasa abantu abafuna obubenje ku Luguudo lw’e Masaka, Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu CBS fm nga buli wamu ne bannamikago aba Rotary, baatandika enteekateeka y’okuzimba ekifo awajanjabirwa abafunye obubenje mu ddwaliro e Nkozi ekimanyiddwa nga Nkozi Hospital Accident ,Injury and Trauma Centre.
Mu nteekateeka eno baasalawo okutegeka ekyeggulo buli mwaka okuyita mu Pulogulamu ya Kaliisoliiso, eweerezebwa ku CBS omukutu ogwa 88.8 buli kumakya essaawa emu n’ekitundu okutuuka ku bbiri.
Ekyeggulo kino ekimanyiddwanga Kaliisoliiso Dinner kigenderera okusonda ssente ezinaazimba ekifo ekyo kino, saako okusanyuka n’okwewummuzaamu.
Okusinzira kw’akulira ebiwerezebwa ku Mpewo za Radio CBS, Abby Mukibi ategezezza nti enteekateeka ziwedde era nga essaawa kkumi n’emu ey’akawungeezi, abantu bonna abaasasudde basuubirwa okuba nha batuuse, batandike okunyumirwa.