Abakungu okuva mu ministry y’ebyentambula n’emirimu basaanze akaseera akazibu okumattiza abatuuze be Bukasa mu Municipaali ye Kira mu district ye Wakiso, Bebabadde bazzeemu okuwa nsalesale wa wiiiki emu nga bavudde mu kifo kino.
Government eteekateeka kuzimbako omwalo gwe Bukasa.
Abatuuze ababadde abamalirivu batadde ku nninga ba commissioner bano babanyonyole ku nsonga y’okubagulira ettaka wetuuse, ng’ omukulembeze w’eggwanga bweyabasuubiza.
Bagamba basuubizibwa okubagulira ettaka, okubawa amabaati ne cement.
Wabula aba ministry bakabatemye ebyo tebabimanyi era nebabalagira bazingeko engugu zaabwe bunnambiro, abatuuze kyebawakanyiza nekiddiridde omu kuba commisioner avunanyizibwa ku project yokuzimba omwalo guno Tibirwa Rosemary okunyakula omuzindaalo nagukuba omu kubakulembeze babatuuze.
Abakungu banno embeera eyongedde okubabijjira nga abatuuze babalumiriza okuziimuula ekiragira kya President, nti bweyayita abantu abakwatibwako ku nsonga eno mu makkaage e Nakasero n’abasuubiza okukola ku nsonga zabwe.
Amyuka omuduumizi wa police mu Kampala neemiriraano Tushimwe Gerald wamu namyuka RDC we Kira Ntale Emmanuel bakkakkanyiza embeera era nebalagira ba commisioner okuddayo beetegereze bulungi ensonga,okusinga okusika omugguwa nabatuuze.
Olukiiko gyerugweredde ng’abatuuze bano abakulembeddwamu ssentebe wabwe Kaddu John bakalambidde nti ssibakuseguka mu kitundu okutuusa nga ensonga zaabwe zegonjoleddwa.
Bisakiddwa: Ngabo Tonny