Government etandise okusisinkana abavunaanyizibwa ku kulondoola ebyenjigiriza mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, okusalira amagezi ekizibu ky’ebifo omukuumibwa abaana abatannaba kutandika kusoma, ebyeyongedde nga tebiri mu mateeka.
Entekateeka eno etuukidde mu kiseera nga ministry yébyenjigiriza etuula obufoofofo, okulaba engeri gyerungamyaamu ebifo bino, okutaasa abaana béggwanga abakuumibwa mu bifo ebitasaanidde.
Bwabadde asisinkanye abalambuzi bámasomero ne bannabyanjigiriza mu bitongole ebyenjawulo, ku Kitende secondary school e Kajjansi ,Doreen Ankunda Tumweebaze commissioner wÁmasomero ga primary era nga yavunaanyizibwa ku bifo omukuumibwa abaana abatannaba kutandika kusoma, agambye nti abaana abato bangi bakuumibwa mu bifo ebikyaamu ekiteeka obulamu bwaabwe mu matigga.
Ankunda ategeezezza nti nga ogyeeko ebifo ebitatuukanye na mutindo okweyongera, abantu abakolera mu bifo bino nabo tebalina bukugu bumala kubeera na baana bano, ekiteeka ebisera byabaana eby’omumaso mu matigga.
Mungeri yeemu Ankunda alagidde abalondoozi bÁmasomero ku district , okuddamu okutalaaga nÓkuzuula amasomero nÉbifo omukuumibwa abaana ebitalina biwandiiko bituufu.
Abamu ku balambuzi bÁmasomero abeetabye mu nsisikano eno bategeezezza nti omuwendo gwÁmasomero agatali mu mateeka ku mutendera gwa Nursery, primary ne siniya gweyongedde.
Bisakiddwa: Kato Denis