Ab’ekibiina kya Forum for Democratic Change (Najjanankumbi) bawanze eddusu ku munnabitone Mukiibi Sadat amanyiddwa nga Kalifa AgaNaga, bamuwadde bendera y’ekibiina avuganye ku ky’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North ekyalimu omugenzi Muhammad Ssegiriinya.
Omukolo oguyindidde ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, President w’ekibiina Eng. Patrick Oboi Amuriat agambye nti bwebaatunudde tunudde mu bannakibiina e Kawempe, baakizudde nga AgaNaga alina enkizo okukira ku balala, erabnebakkaanya bukuyege avuganye ku lw’ekibiina.
Mukiibi Sadat (AgaNaga) agambye nti mwana nzaalwa ey’e Kawempe era amanyi bulungi embeera zabanna Kawempe kale ng’asaanidde okubakiikirira n’okubaweereza obulungi ng’omubaka waabwe.
Abasabye bamwesige.
Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga kaalangirira enteeka z’okujjuza ekifo kya Kawempe North, baakulonda nga 13 March,2025.
Ennaku zino ebibiina biri mu keetereekero k’okusunsula abanaawebwa bendera okuvuganya nga woosomera bino NRM yalonda Hajjati Nambi Farida okugikwatira bendera.
NUP yafunye abeegwanyiza ekifo kino 11 kwegenda okulondako omu agikwatire bendera era bamulangirira wiiki ejja.#zinaddookunywa