Akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya FDC ekiwayi kye Najanankumbi kerayiridde okugenda mu maaso n’enteekateeka z’okulonda kwa kibiina kino okubindabinda nti wadde nga waliwo abaddekidde mu kooti nebabawawabira.
Ekiwayi kya FDC ekituula ku Katonga road ekikulirwa Ssalongo Erias Lukwago kyekaddukidde mu kooti okukuwakanya enteekateeka ezo.
Mu lukungaana lwa banna mawulire olutudde ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi ,ssentebe w’akakiiko ke by’okulonda mu FDC Toterebuka Bamwenda agambye nti ng’ekibiina betegefu okugenda mu kooti okwewozaako singa banayitibwa, nti naye balina okugenda mu maaso n’enteekateeka zabwe.
Mungeri yemu Bamwenda awakanyiza ebimwogerwako nti waliwo abaamukozesa ensobi mu kalulu kano,agambye nti ye musajja mukulu buli ky’akola akimanyi
Abalonzi 1271 bebagenda okwetaba mu kalulu ka FDC nga 06 October,2023, bava mu district 123, district endala ezisuka mu 10 zaazira okulonda kuno olw’obutakaanya obwabalukawo mu bakkikulira.
Okulonda kwakuyindira ku Patidar Samaj sports ground e Lugogo mu Kampala.#