Ministry y’ebyobulamu etandise okusomesa abantu ku tteeka eppya erya Public Health Act 2023, nga lino lirimu obuwaayiro obulambika bantu baabulijjo, abakulira amalwaliro n’abasawo abali mu malwaliro g’obwananyini.
Eteeka lino likugira abazadde okutwala abaana baabwe mu masomero ga pre-primary gayite Kindergarten oba nursery, ssinga omwana abeera tagemeddwa endwadde 13 ezigemebwa buli mwana.
Eteeka lino mu kawaayiro aka 45, liragira nti ssinga essomero likkiriza okuwandiisa omwana omuto ng’omuzadde w’omwana tamaze kulaga kipande kikakasa kugemebwa kwa mwana, lyakuvunaanibwa.
Wabula mu ngeri yeemu musiddwamu akawaayiro akakugira omuntu yenna okukakibwa okugemwa endwadde nga teyeyagalidde.
Etteeka era liragira minister w’ebyobulamu okubagawo amateeka agalambika ku byobulamu ssinga wabaawo endwadde ezibaluseewo.
Etteeka lino era lirambise nti government yakuddamu buto okuteekawo amateeka aganalungamya amaka awakuumirwa emirambo agatandikibwawo kampuni ezenjawulo ezimanyiddwa nga Funeral service company.
Etteeka lino liwadde obuvunanyizibwa obwenkomeredde eri abakulira ebyobulamu mu district okulondoola eby’obulamu byonna mu district.
Martha Achan, munnamateeka akolagana ne ministry y’ebyobulamu, agamba nti nga bakolagana n’ekibiina ky’abasawo mu ggwanga ekya Uganda medical Association, basazeewo obutateekamu kawaayiro kakaka bantu kugemebwa kuba kimenya amateeka g’ekisawo.
Dr Ekwaro Obuku, omukugu mu byobujjanjabi alabudde bannamawulire okwewala okugwa mu butego bw’etteeka lino, nti kuba lirimu akawaayiro akasiba omuntu yenna awandiika obukyamu ku ddagala erikozesebwa mu kugema endwadde ssinga kizuulibwa nti amawulire gaawadde gataataaganya okugema okubeera kugenda mu maaso.
Dr. Daniel Kyabayinze, director akuli ebyobujjanjabi ebyolukale mu ministry yebyobulamu, agamba nti etteeka lino libadde lyetaagisa, nti kubanga eribaddewo erirungamya ebyobulamu ekadde lyakolebwa mu mwaka gwa 1930 ngobuwayiro nebibonerezo ebirimu bikadde.
Dr Kyabayinze mungeri yeemu agambye nti mu tteeka lino, abakulembeze ba government ezeebitundu abanalemererwa okukola obuvunanyizibwa bwabwe nabo bakuvunaanibwa, naddala ku ky’okulwanyisa endwadde ezibalukawo mu bitundu byabwe.
Bisakiddwa: Ddungu Davis