Olukiiko oluddukanya empaka z’ebika bya Baganda, lufulumizza ennambika y’enzannya za Semifanal, Embwa egenda kuttunka ne Ngeye ku mutendera gwa semifinal mu mpaka ez’omupiira ogw’okubaka 2025.
Ate semifinal endala egenda kubeera wakati we Mamba Namakaka egenda okuzannya ne Ngoonge.
Emipiira gya semifinal ne final byonna bigenda kuzannyibwa ku Saturday eno nga 03 May,2025 mu kisaawe e Wankulukuku.
Ku lunaku lwe lumu emipiira gya basajja egy’ebigere lwe gigenda okutandika, wakati we Ngabi Ennyunga ng’ettunka ne Akasimba kusaawa 9 ez’olweggulo.
Ebisale by’okuyingira mu kisaawe e Wankulukuku bya shs omutwalo 10,000 ne 20,000/=
Ennyonyi Ennyange be bannantamegwa b’empaka ez’okubaka omwaka oguwedde 2024 ate nga Engabi Ensamba be bannantamegwa b’empaka z’omupiira ogw’ebigere omwaka oguwedde.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe