Mu program Entanda eweerezebwa ku cbs fm 88.8, Abamegganyi,Abameganyi Nakasiwa Gladys owe Kyadondo, Boogere Richard owe Buddu neb Ssenfuka Masasi owe Busujju bebattuunse, mu lumeggana olwanga 17 October,2023.
Boogere Richard eyafunye obugoba 29 ne Nakasiwa Gladys eyafunyi obugoba 17 bayiseewo okugenda mu lumeggana oluddako, ate Ssenfuka Masasi eyafunye obugoba 16 n’awanduka.
Ebibuuzo biibino;
1. Tuweeyo engeri bbiri omuntu zaayinza okukozesa okugoba ensiri mu maka ge – Asobola okukuma ekyoto nekivaamu omukka neguzigoba n’okugogola ebidiba byonna ebimuliraanye.
2. Tubuulire omwami w’essaza akola Ogwabwawakayembe eri Kabaka – Katambala.
3. Olugero: Osula wa – Y’akuziga.
4. Tuweeyo ebintu ebikulu bisatu ebitabula ku mukolo ogwokulya olubiika – Amazzi, Emmwanyi enfumbe n’ekijjulo.
5. Omuti okuva amasanda Omuganda gweyeyambisa okusiba emipiira? – Ppala.
6. Bukulu ki obuli mu kifo Omuganda waayiwa evvu? – Wajja evvu lyayiwa ku bitooke okugoba obuwuka.
7. Enva eziyitibwa Oluwampa kyeki? – Omusaayi gw’embuzi ogufumbiddwa.
8. Kabaka ki eyalwana ennyo mu ntalo n’alwanyisa n’emmuli? – Nnakibinge.
9. Tuwe erinnya Ly’omusiige ayambako Musolooza mu kuseesa mu Kyoto Ggombolola – Kampujja.
10. Omwana Kayemba amaaso ge gamuli mu ngalo. Kikyamu ki ekiri mu sentensi eyo – Ekisoko ekyo kikozesebwa ku mwana muwala.
11. Omuganda bwagamba nti ennyama eno etiitiiwadde, aba ategeeza ki? – Eba nsava nnyo.
12. Omwana omuwala akyadde e Busoke, tabuuka masanganzira, Tubuulire ensonga ey’ennono eri mu muzizo ogwo? – Kimutangira okusoba.
13. Endagaano nnyingi nnyo ezikoleddwa wano mu Buganda, naye eyakolebwa okuggya Ssekabaka Muteesa mu buwanganguse yakolerwa wa? – Namirembe.
14. Ekisoko: Okweyokerera omukira okubulwa kyotuuza, kitegeeza ki? – Kwereetera buzibu.
15. Olugero: Ewafa obuguzi – tewafa mukwano.
16. Ekika ng’omuziro gwakyo n’akabbiro byombi mmere? – Ekkobe.
17. Ensawo mwebatereka emmwanyi enfumbe , mu Buganda tugiwa linnya ki? – Endabi
18. Waliwo abantu abamu nga nebwebanywa omwenge ogwenkana ki, ogenda okulaba ng’atamiira. Omuntu oyo kisoko ki ekimugenderako? – Okuwunya mu ndeku.
19. Olugero: Ekiri ku njovu – Bakiraba egudde.
20. Abalima omuwemba, baggyamu ogumu nebalekamu ogumu, ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki? – Okujjiza.
21. Bwebagamba nti kasooli ayabizza, baba bategeeza ki? – Aba aleese oluyange.
22. Okumugunya, nakyo kika kyakulya, Mmere ki emugunyizibwa? – Lumonde.
23. Waliwo ekinyonyi, ekinyonyi ekyo Omuganda akiwanuuzaako nti bwowulira nga kikaabye emirundi egiwera omanya nti enkuba yaakutonnya, Kinyonyi ki ekyo? – Ettutuma.
24. Waliwo munna Uganda Doctor abadde omukugu ennyo mu kujjanjaba emitima, yafiiridde emitala w’amayanja, yaani? – Dr. Aggrey Kiyingi.
25. Nnamasole ow’omulembe guno Omutebi ava mu kika ki? – Nkima.
26. Tuwe amannya ga Kkangaawo aliko kati – Owek. Ronald Mulondo.
27. Tubuulire Kabaka wa Buganda eyawangula Butambala – Ssekabaka Kateregga.
28. Waliwo lwetwekoona ekigere nga tubadde tutambula, Omuganda akitaputa atya? – Wayinza okubaawoo omuntu amwogeddeko obubi.
29. Olugero: Katonda gweyaawadde gwaddiza, mu kibanja ky’omugumba temubaamu malaalo.
30. Lwaki akawujjo kebanywesa omubisi ku ssogolero kakolebwa mu byayi? – Guleme kuseerera.
31. Akaana k’enjovu akakazi nga kakyayonka kaweebwa linnya ki? – Nakate.
32. Tuweeyo amannya abiri agayinza okuweebwa omwana gwebagamba nti yalanga abalongo? – Kasowole oba Kajjanannenge.
33. Amasiro agali e Masanafu ga Ssekabaka ki? – Ssekabaka Kiweewa.
34. Omukazi bwaba afumba ayinza okumanya nti anaalya ku nnyama, akimanya atya? – Bwaba afumba enku zisobola okuvulula.
35. Ekisoko, okukwata mu mannyo g’empisi kitegeeza ki? – Okwereetera ebizibu.
36. Abaganda bawanuuza nti ensolo eno gyebaasookera ddala okufuga, nsolo ki? – Mbuzi.
37. Tuweeyo amannya abiri agaweebwa omumbejja asika ne Kabaka e Naggalabi? – Lubuga, oba
Nnaalinnya.
38. Olugero: Tuwakanire ebaagwa – nti erina eggwako?!
39. Omubala gw’abentalaganya, mulimu ekisoko ekijjukiza abantu nti buli muntu ajja kufa. Kisoko ki? – Ssekiriba kyattaka, mpaawo atalikyambala.
40. Ani yawandiika ekitabo, “Obunyuvu bw’Olulimi Oluganda”? – Yoweeri Lukongwa.
41. Mu Buganda okuvuma sikyampisa, ddi lwekikola ng’ekyobuwangwa? – Nga babuulirira omugole.
42. Olugero: Obuteeraba – bukuvumya akusinga.
43. Okuvugula munno kikolwa kya bujoozi nnyo, Okuvugula kye ki? – Omusajja okusigula muka munne.
44. Amakulu g’ekisoko, okukomba mu kibatu – Okukuba enduulu.
45. Engabana y’ennyama enjigge mu Buganda eraga etya omwoyo gw’obwasseruganda? – Ssinga wabaawo omuyizzi afunye ennyama entono, bamuwaako.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.