Mu program Entanda ya Buganda nga 2 November, 2023 Ssemmanda Joel eyafuna obugoba 22 ne Ssennono eyafuna obugoba 17 baayitamu okweyongerayo ate Babirye Gertrude eyafuna obubonero 14 n’awanduka.
Ebibuuzo by’Entanda ebyababuuzibwa bye bino:
1. Waliwo ekika ky’Abaganda ekirina essiga e Tanzania, kika ki? – Nte
2. Olugero: Ekigga ekibi – kikukwasa ku nkanaga
3. Ani yayiiya Oluyimba Eddaame lya Cchwa? – Christopher Ssebadduka
4. Ani yawandiika ebitabo bino, Nkyalira walumbe e Ttanda? – Kaddu Sunda Agalimu
5. Mu mubala gw’abeddira engabi mulimu ekisoko ekiraga nti bayunzi, kyekiriwa? – Kakube okamenye, tunaakayunga
6. Ekisoko, Omukazi okwesimba kitegeeza ki? – Omukyala okulwa mu ddya nga tafunye lubuto
7. Erinnya eddala erya kayuukiyuuki? – Akasekera
8. Tuwe emyaka ssematalo eyasooka mweyatandikira nemweyaggwera? – 1914-1918
9. Essaza lya Buganda erisinga okubeeramu embuga enkulu ez’ebika bya Abaganda – Buddu
10. Olugero, Abanaku n’abanaku bamanyagana – Empologoma bwerwala ensiri yeerumika
11. Ani yayiiya oluyimba Akaana ka Kawalya ka Wannyana – Omugenzi Elly Wamala
12. Ani yawandiika ebitabo, Nnasobola ekitasoboka ne Zonna Mpayippayi – Waalabyeki Magoba
13. Mu mubala gwabeddira endiga mulimu ekisoko ekitegeeza nti tebasobola kulya ndiga – Nnyabo Nnabbosa mpa alimuliisa endiga
14. Ekisoko, okukwata oluwenge kitegeeza ki? Kwekubeera ku lunyiriri lw’abantu naye nga ggwe osombye emabega
15. Erinnya eddala ery’omuti Omutta njoka – Omuwabula.
16. Tuwe emyaka ssematalo II mweyatadikira neweyaggwera -1939-1945
17. Tuweeyo amasaza ga Buganda abiri nga buli limu lirimu embuga enkulu ey’ekika kya Buganda – Butambala, Kkooki ne Bulemeezi
18. Olugero: Entubiro eteekumire – tekukwasa ku nkanaga
19. Ani yayiiya Oluyimba Baalaba taliiyo – Ssaalongo Dan Mugula
20. Tuwe amannya g’omuwandiisi w’ebitabo Ssanyu teribeerera ne nnaku teba yoomu – Solomon Mpalanyi
21. Ab’eddira Omutima Omuyanja mu mubala gwabwe mulimu ekisoko ekiraga nti abantu bano bavubi, gweguliwa – Ekifa mu nnyanja omuvubi yaabika
22. Ekisoko Okwogera ng’ayita ku nju eyidde – Okwogerera waggulu
23. Omuti Omuvule guweebwa linnya ki eddala – Omuggumiza
24. Myaka ki Ssekabaka Mwanga II mweyawangangukira ne mweyakisiza Omukono – 1899, Ne 1903
25. Ekimuli ky’olusenke Omuganda akiwa linnya ki? – Obwanyo
26. Tubuulire amannya g’omukuza omukulu owa Ssekabaka Daudi Cchwa II – Sir Apollo Kaggwa
27. Olugero: Bwozigamira enkadde – negyozimba ekulema
28. Olumbe lulina amattire, waliwo Kabaka wa Buganda oluvannyuma lw’ekisubi okumugwa ku liiso, Kabaka ki oyo? – Ssekabaka Kiyimba
29. Tunnyonnyole amakulu g’ekisoko, okukuba ennanda endobo – Olima ng’olimisa enkumbi
30. Ku ssogolero ly’Omuganda tekubulako Kantamba, Akantamba kekaki? – Akawujjo kebanywesa omubisi.
31. Obulwadde bw’ekibobe bukwata ebitundu by’omubiri bibiri okusinziira ku Baganda, byebiriwa? – Ennyindo n’emimiro
32. Okuweta eky’engo, kisoko, kitegeeza ki? – Okutambuza ebigere
33. Mu lulimi oludda ku bayizzi mulimu ekigambo Buswagu, kitegeeza ki? – Kitegeeza kwebaza muyizzi ng’akuwadde ku nnyama ye
34. Tuwe erinnya lya Katikkiro eyasembayo ku mirembe gya Muteesa II – Joash Mayanja Nkangi
35. Olugero: Olunaanoba – terubula ntondo
36. Kabaka Omwana gwasooka okuzaala aweebwa erinnya ki? – Nnassolo
37. Ani yawandiika ekitabo Amadda ga Kabaka – Fr Clement Kiggundu
38. Waliwo ettooke Abaganda lyebawanuuza nti teriwaatibwa, ttooke ki? – Mukubyakkonde
39. Amazina amaggunju, ga nnono mu Buganda, lwaki gaayiiyizibwa – Kusanyusa Kabaka Mulondo
40. Bw’owulira amannya gano omanya nti yaasembayo mu lubu lw’abalongo, ge galiwa – Kitooke ne Kiteerera
41. Kiwuka ki ekibika – Nnamunyeenye
42. Tubuulire Omutaka w’e Malongwe asangibwa mu bisoko – Kawuulu
43. Olugero. Omuzira kigere kya nvubu – Okyegezaamu ng’evuddewo
44. Abambowa balina ekintu kyebambala mu bulago, okubaawula ku balala, kyekiki? – Kisamba
45. Kabaka ki eyassaawo empisa y’aboluganda okuba n’ebiggya ebyawamu? – Kabaka Kimera
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.