Mu program Entanda ya Buganda ebumbujjira ku CBS 88.8, eyabaddewo nga 24 October,2023 abamegganyi Zimaze Kalemeera Festo eyafunye obugoba 24 ne Kafeero Steven eyafunye obugoba 21 bebaayiseewo okweyongerayo mu lumeggana oluddako, ate Kamoga Kasajjakaaliwano eyafunye obugoba 19, yawanduse.
Bino by’ebibuuzo by’ Entanda.
1. Ku ggaali kuliko ekitundu ekiyitibwa ffuluweero, erinnya eryo liva mu kigambo ki ekizungu? – Free Wheel.
2. Abaganda balina enva baziyita “mufu” zeziriwa? – Bwebutiko obubaala obutannakuulwa (okuggyibwa)
3. Tuweeyo omuzizo gumu ogwekuusa ku ttabo ly’ekiswa – Ettabo terisongwamu lunwe.
4. Tuweeyo erinnya eddala eriweebwa Ssekiboobo? – Mboobo.
5. Olugero: Abakulu n’abakulu tebaseerana mukubi – Nga za munnyo.
6. Tuwe erinnya ly’omusajja eyawasa Nnamasole Irene Drisila Nnamaganda – Rev Peter Kigozi.
7. Tuwe amannya asatu aga Kyabazinga wa Busoga aliko kati – Isebantu William Wilberforce Gabula Nadiope IV.
8. Munnamusa y’Abaganda mubaamu ekigambo Eradde, ekigambo ekyo kitegeeza ki? – Kitegeeza Emirembe.
9. Ku ggaali kuliko ekitundu ekiyitibwa ekkaliya, ekigambo ekyo kiva mu kigambo ki ekizungu? – Carrier.
10. Abaganda balina enva zebayita ebikunta by’ensiri, zeziriwa? – Ebisoobooza.
11. Abassi b’enswa ensejjere balina ekigambo kamukungube, kitegeeza ki? – Ekiswa ekiri mu bbanga nga tekiriiko kantu konna.
12. Waliwo essaza eriyitibwa Mukuumabalangira, tuwe erinnya ery’ennono ery’omwami atwala essaza eryo – Kasujju.
13. Olugero: Omugenyi akkuse – y’alaba nnyinimu ebyenda.
14. Kitaawe wa Nnamasole eyaddamu okufumbirwa – Rev Yonasani Kayizzi.
15. Erinnya lya Omukama wa Tooro aliko kati – Oyo Nyimba Kabamba Lukidi IV.
16. Tuweeyo emirundi ebiri okulamusa lwekutakkirizibwa mu Buganda – Omuntu agenda okuzuuka enswa talamusa, Omukazi eyetisse enku talamusa, Aggya obutiko talamusa.
17. Ku ggaali kuliko akasottebwa era kuliko ekitundu ekiyitibwa mandi gaadi, kiva mu kigambo ki? – Mud guard.
18. Abaganda balina enva zebayita mmokoti, enva ezo zeziriwa? – Enva z’empindi (ebibala byazo).
19. Olwataata kigambo ekyekuusa ku mulimu gw’okutta enswa ensejjere, kitegeeza ki? – Eriiso ly’enswa ensejjere.
20. Erinnya ettongole ery’omwami wa Kabaka alamula essaza Buddu.- Ppookino.
21. Olugero: Abakadde kabatabaale – Nga temuli wuwo.
22. Waliwo Katikkiro eyalekulira obwami, olwa nnamasole okuddamu okufumbirwa, yaani? – Martin Ruther Nsibirwa.
23. Tuwe erinnya ly’ Omusinga w’Obusinga bwa Rwenzururu. – Irimengoma Charles Wesely Mumbere.
24. Mu nnamusa y’Abganda ey’ennono mulimu ekigambo Bwera, kitegeeza ki? – Nti gyova Mirembe?
25. Ekkovu nebweriyita ku lwazi lirekawo obulambe, ekyo kyerireka kiweebwa linnya ki? – Akalindi.
26. Okuwuuya kyeki? – Okubuzaawo omuntu n’abulira ddala.
27. Omuganda bwagamba nti omukolo gwabadde nnandekererwa, olwo aba ategeeza ki? – Omukolo ogubeera omulungi ennyo naye abantu nebagwesamba mangu nebaguvaako nga tegunnaggwa.
28. Ssinga omuganda asanga ekitooke kye nga kyetuze akola ki? – Engo eyo agisuula mu masanganzira.
29. Olugero: Gatutabye – tatta wa ggwanga.
30. Tuweeyo engeri bbiri Omuganda mwayita okutangira endwadde ng’ayita mu nnono – Yeegendereza ebiyinza okuvaako okufuna endwadde , okuba omuyonjo
31. Kigambo ki ekirala kyoyinza okukozesa okutegeeza okusaanuusa ekyuma? – Okukulukusa ekyuma.
32. Obumbowa bwa Kaawonawo bwatandika ku mulembe ki? – Muteesa I.
33. Newankubadde nga tugamba nti ebinyeebwa tubisiika nga tukozesa oluggyo naye ekigambo okusiika sikituufu, ekituufu kyekiriwa? – Okukalanga.
34. Abaganda emmwanyi bazisiika ku luggyo, lwaki? – Okufunamu akawoowo n’okukala obulungi kigisobozese okusekulwa obulungi.
35. Olugero: Ewaffe zirya ngugo – akuddiza maliba.
36. Omumbejja Kabaka gwasooka okuzaala amutuuma linnya ki? – Nnassolo.
37. Ssaza ki omusangibwa olusozi Rwenzori? – Teririiyo.
38. Ekisoko kino kitegeeza ki? Okuyita omuntu ku litalaba – Okubuzaabuza omuntu n’omubba.
39. Omwezi Mutunda gumala ennaku mmeka? – 30.
40. Entebe Nnamulondo yatandika ku mulembe ki? – Gwa Kabaka Mulondo.
41. Olugero: Emmeeme y’omutambuze – eruma madda.
42. Emigaso ebiri egiteekesaawo lubuga – Okusikira ekitanyi n’okufumba emmere ey’omuzizo.
43. Embeera z’amirundi ebiri mwetuyinza okukozesa ekigambo Okulega – Okulega ku mwenge n’okulega ku mutuba.
44. Oluwonzi lwa Ngaali luweebwa linnya ki eddala? – Ssule.
45. Tuwe amannya abiri agayinza okuweebwa eryato eriweebwa eryato erisimwa obusimwi – Emmanvu oba omulandira.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K