• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda 2024 : Kidda walime – Nga kisimbe

Eno ye Ntanda 2024 : Kidda walime – Nga kisimbe

October 19, 2024

NCHE etandise okukola ennoongosereza mu bisomesebwa ku University – amasomo agamu gakuggyibwawo

August 18, 2026
Government ekkiriza okusasula ba Intern doctors ensako ya kakadde ka shs kamu buli mwezi

Government ekkiriza okusasula ba Intern doctors ensako ya kakadde ka shs kamu buli mwezi

August 18, 2026
Court  orders New Park Lockup Owners Association to compensate 2 traders billions of shillings 

Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150

August 17, 2026

NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi

August 17, 2026

Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026

August 16, 2026
Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

August 15, 2026
Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu  1954 – 2026

Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu 1954 – 2026

August 15, 2026
Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

August 14, 2026
Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa  ku kkomera e Kyegegwa

Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa ku kkomera e Kyegegwa

August 14, 2026
Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

August 14, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

August 13, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Omuyimbi Vinka ekiise embuga naayanjulira Katikkiro Mayiga ekivvulu kye – ekiriwo nga 21 August,2026 ku Cricket Oval

August 13, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Archive

Eno ye Ntanda 2024 : Kidda walime – Nga kisimbe

by Namubiru Juliet
October 19, 2024
in Archive
0 0
0
Eno ye Ntanda 2024 : Kidda walime – Nga kisimbe
0
SHARES
91
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Mu Program Entanda ya Buganda ku 88.8 Ey’obujjajja nga 18 October,2024 abamegganyi battunse mu bibuuzo bino wa mmanga;

1. Ani yawandiika ekitabo Federo mu Buganda enfuga kiwamirembe? Gamaliyeri Mugumbya.

2. Abayiisa b’omwenge balina ekikolwa ekiyitibwa okulongowaza, kiba kitya?….. Ekikolwa ekyokuyubuluzaamu embidde.

3. Olugero: Kameze muluggya … ggwe osima.
4. Olunaku lw’okunywa obuugi mu nsi yonna lwatandika mu mwaka ki? 2009.
5. Amakulu g’ekisoko. Okulweyitira, Okukola ekintu nekikuviiramu obuzibu.
6. Engoma ya Lubaale Nnende yaweebwa linnya ki? Maseege.
7. Essaza Kabaka eyali agenze okutabaala mweyakisiza omukono? Buddu.
8. Ekiggwa kya Lubaale Bulamu kiri ku mutala ki? Ttanda
9. Ani yawandiika akatabo Simudda nnyuma? Ham Mukasa.
10. Abayiisa b’omwenge balina ekikolwa ekiyitibwa okumenyerwa omwenge. Bakikola batya? Okusena ku mwenge ogutannaba kuggya.
11. Olugero: Gyolwalira ebbwa… Gyotenda enswera.
12. Olunaku lw’okunywa obuugi mu nsi yonna lwabaddewo ddi? Nga 10 October.
13. Ekisoko okutema ekikasa kitegeeza ki? Kukankana.
14. Embuga ya Nnende esangibwa ku kyalo ki? Wabiti oba Bukeerere.
15. Kabaka ki eyatabaala ensi y’e Kiziba n’akisa omukono ng’akomawo e Buganda? Ssuuna II
16. Kabona w’empewo eyitibwa bulamu yeddira muziro ki? Ngeye.
17. Amannya g’omuwandiisi w’ekitabo Omulembe Omuteesa. Ernest Z Kibuuka.
18. Abayiisa b’omwenge balina ekigambo kinnawattaka, kitegeeza ki? Amabidde agaziikiddwa mu ttaka.
19. Olugero: Kidda walime…Nga kisimbe.
20. Omuntu eyasooka okuwangula empaka z’okunywa obuugi yanywa bungi ki? Yanywa bucket nnamba.
21. Ekisoko Okuyita mu z’e Kibuye kitegeeza ki? Kumenya mpisa ya nsi.
22. Lubaale Nnende yazaalibwa buzaalibwa, tubuulire nnyina. Nnaabalende.
23. Erinnya ly’omukulembeze w’ensi y’e Kiziba Kabaka wa Buganda gweyali agenze okutabaala, amale akisize omukono mu kkubo ng’akomawo? Kattaba.
24. Erinnya lya Kabona w’empewo Bulamu. Nnakabaale.
25. Erimu ku mannya agatuumibwa mu Buganda mulimu Bakkiddaawo, lituumwa ani? Lituumwa omusajja omutiitiizi.
26. Olugero: Ddiba likaze. Ennyomo zikolongo.
27. Omwenge gw’ekimpukumpuku gweguliwa” Ogwo nnyinimu gwatereka n’anywa mpola mpola ne banywanyi be.
28. Kabona wa Lubaale Nnende. Kajugujwe.
29. Okukisimba ne kiroka kisoko kitegeeza ki? Okunyumya emboozi ebbanga eddene.
30. Ekyayi ky’okukitooke ekiddugavu kiyitibwa kitya? Nakayonga.
31. Abatunda omwenge batera okussa enkata ku kkubo, eyitibwa etya? Endago oba enkaaka.
32. Ebika by’ebitooke bibiri ebitera okuba n’ebyayi ebyeru. Gonja ne Kivuuvu.
33. Tubuulire akanwe akatono akakulira ku kiwagu ku ttooke kaweebwa linnya ki? Nnammere.
34. Nakyejwe jjinja lisangibwa mu ssaza ki? Butambala.
35. Olugero: Abalungi ngoma mpunde…bamala abalungi embuga.
36. Embuga y’essaza Kabula eri ku kyali ki? Lyantonde.
37. Ekisoko okunyookeza munno eby’enjiri kitegeeza ki? Kulemesa munno kubaako kyatuukako (Kubonyaabonya/ kumalako mirembe)
38. Ekika ky’Abaganda ekirina Obutaka e Mbazi. Nvubu.
39. Mu mannya g’abaami b’amasaza mulimu alina eritegeeza omufuzi eyeetwala, liriwa? Ppookino.
40. Mu lulimi oludda ku Kabaka, Kabaka tanyiiga, akolaki? Akalala.
41. Olugero: Ebikunku ebigenda embuga… Tebidda bwereere.
42. Omubisi gw’embidde oguwedde okussaako omuwemba guyitibwa gutya? Entwere.
43. Amasiro ga Ssekabaka Ssuuna I gali ku kyalo ki? Jjimbo.
44. Ekisoko Okutta obugenyi kitegeeza ki? Kukyala n’ogabulwa nnyo ku bugenyi.
45. Akabangirizi akeeyera okwetooloola ekikolo ky’ekitooke ekiriko essanja kayitibwa katya? Embuga ya Nnabuzaana.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • NCHE etandise okukola ennoongosereza mu bisomesebwa ku University – amasomo agamu gakuggyibwawo
  • Government ekkiriza okusasula ba Intern doctors ensako ya kakadde ka shs kamu buli mwezi
  • Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150
  • NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi
  • Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist