Ennyonyi y’eggye lya UPDF egudde ku kisaawe kya Mogadishu International Airport, mu Somalia, abantu 5 bafiiriddemu.
Ennyonyi eno ebaddemu abantu 8, basatu bebawonyeewo okuli omugoba waayo, n’omuyambi we, ne yinginiya waayo.
Bano abasatu wamu n’abantu ba bulijjo abasangiddwa okumpi newagudde ennyonyi abalumiziddwa, baddusiddwa mu ddwaliro lya AUSSOM Sector I Level two okufuna obujanjabi.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa UPDF nga kissiddwako omukono gw’omwogezi Omwogezi waayo Brig. Gen Felix Kuraigye, kigamba nti Nnamunkanga egudde ya kika kya Mi-24 – AU0-015, ebadde yeyambisibwa abajaasi abaatwalibwa e Mogadishu okukuuma emirembe.
Ennyonyi eno egudde ku ssaawa emu n’ekitundu ezokumakya, era ng’olugudde, wabaddewo okubwatuka okuva ku by’okulwanyisa ebibadde ku nnyonyi eno.
Abantu ba bulijjo n’ebizimbe ebiriraanye ekifo ewaagudde akabenje bikoseddwa.
Oluvannyuma lw’akabenje kano ennyonyi ennwanyi okuva ku kisaawe kya Mogadishu z’azze mu bwangu mu kifo ewaagudde ennyonyi eno okuyambako abantu abaabadde bafunye obuzibu okuyambibwa.
Ennyonyi ya Turkish Airlines ebadde enaatera okugwa ku kisaawe, eragiddwa okugira ng’erindako, ekijireetedde okumala obudde obuwanvuko okusiinga bweyabadde esuubirwa ng’eri mu bwengula.#