Enkuba efudembye obutasalako esannyalazza ebyentambula e Namasuba ku luguudo oluva e Kampala okudda Entebbe ku Bata Bata, olwa mukoka awaguzza nayanjala mu luguudo.
Ebidduka ebiva mu Kampala bimaze akaseera nga tebisobola kusala kudda Entebbe, olw’omwala Kaliddubi ogubimbye negwanjala mu kkubo.
Abantu abakolera emirimu ku Bata Bata okuli ababazzi ebintu byabwe bingi bitwaluddwa amazzi , abafumba emmere nebirala nabo amazzi gayingidde mu mayumba negonoona ebintu.
Omwala Kaliddubi guludde nga gugulumbya abakulembeze ba Makindye Sabagabo Municipal Council olwo butaba na nsimbi zimala okugukola.
Enkuba mu bitundu bya Kampala n’emiriraano esiibye efudemba era ebitundu bingi bikoseddwa amazzi
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius