Ssaabawaabi wa government alaalise Kkooti yómulamuzi omukulu eyé Nakawa nti waliwo enkyukakyusa zaategese okukola mu musango ogwókulya mu nsi olukwe oguvunaanibwa eyaliko president wa FDC ol Rtd Col Dr Kizza Besigye ne munne Obeid Lutalo saako omujaasi Capt Dennis Oola.
Wabula wabaddewo okusoberwa mu kkooti, omuwaabi wa government Richard Birivumbuka bwágezezzaako okukukusa olupapula okuli enkyukakyuka ezikoleddwa mu musango ogwo, olupapula alufunyizzaamu nálusulika ngáluweereza omulamuzi owéddaala erisooka Jonathan Tiyo, mu ngeri eyókulemesa bannamateeeka ba Besigye okululabako.
Kyokka omulamuzi Jonathan Tiyo agubadde mu mitambo, akatemye Birivumbuka nti mu kkooti abadde akiikiridde omulamuzi omukulu Esther Nyadoi, era yamulagidde obutabaako kyakola kyonna okuggyako okwongezaayo omusango ogwo, kubanga ye Nyadoi abadde ku mirimu emirala emitongole.
Ekiddiridde Birivumbuka olupapula aluggyeeyo mu bubba kyokka taganyizza ba puliida bábawawaabirwa kululabako.
Wabula ba puliida bábawawaabirwa nga bakuliddwa Eron Kiiza bawakanyizza enkola ebadde egobererwa, násaba babaweeyo copy ku nkyukakyuka ezikoleddwa mu musango.
Ye puliida Elias Lukwago avumiridde ekyókukandaaliriza omusango gwábantu babwe, buli kadde negwongezebwaayo so ngébbanga eryókubakuumira alimanda lyaggwako dda
Lukwago era awakanyizza enkyukakyuka ezikoleddwa mu musango ogwo, ate nebazibakweka.
Omusango bwe gutyo gwongezeddwaayo okutuuka nga 29 May, 2025, lwe gunaddamu okuwulirwa.
Wabula wazzeewo kwatakwata wabweru wa kkooti, Bannamateeka ba Besigye Elias Lukwago ne Martha Karua, bwe babadde boogerako eri bannamawulire, mmotoka enjeru eyakazibwako erya Drone ezze buteesagga, mufubutuseemu abasajja 2 ababadde mu ngoye eza bulijjo, ne bawamba abawagizi ba Besigye 2 ne beggyawo.
Abawagizi bagezezzaako okuwondera eno nga bwe balaya enduulu, wabula bamaze bya mu bulago.
Besigye ne Hajji Obeid Lutale kaaakano bawezezza ennaku 180 mu nkomyo, enfunda zonna zebasabye okuyimbulwa bibadde bigwa butaka.
Government erumiriza abakulu abo nga kwe kuli nábalala abakyalya obutaala, nti baalina olukwe lwókuvuunika government ya Mwami Museveni, nti era baliko enkuηaana zebaakubanga e Gevena mu Switzerland, Athens ekya Buyonaani ne Nairobi mu Kenya ne Kampala, nga mu kyo baali baluka lukwe olwókufuna ebyókulwanyisa, bamegguze eri government ya NRM eyalondebwa abantu.
Bisakiddwa: Betty Zziwa ne Lukenge Sharif