Abakulu mu gavumenti ya Hait balaajana olw’ekiwamba bantu n’obumenyi bw’amateeka obukudde ejjembe.
Abamenyi b’amateeka bano abatadde eggwanga ku bunkenke,baazibikiddr n’emidumu egitambuza amafuta.
Kino kisannyalazza eby’entambula , Business ziggala misana ttuku, am’amalwaliro gatandise okugoba abalwadde songa n’amasomero gatandise okuggalawo.
Bijjidde mu kaseera ng’eggwanga liyita mu kusoomoozebwa olw’okutirimbulwa kwa Jovenel Moise eyali omukulembeze , n’akataayi tekaasala kkubo nerikubwa musisi ow’amaanyi eyali ku magnitude 7.2,naaleka nga 2200 balusuddemu akaba.
Kinajjukirwa nti omwezi oguwedde abaminsani aba Merica 17 n’omukanada omu abaali bagenze okutwala obuyambi mumaka ga bamulekwa,bawambibwa akabinja akamanyiddwa nga 400 Mawozo nga kaagala million dollar nnamba okuta abantu bano.
Webutuukidde leero,nga ku baminsani bano, kwakayimbulwako 2 bokka.
Canada wetwogerera nga kulwokutaano lwa ssabiiti ewedde,yalangiridde okujja abantu baayo ab’enkizo ku kitebe kyabwe mu Hait.