Abantu abawerako omuli n’abakulembeze b’ekibiina kya National Unity Platform bakyakonkomalidde ku ddwaliro e Lubaga, abasawo bagamba nti bakyayongera okulondoola entunnunsi z’Omubaka wa Kawempe North Ssegiriinya Muhammad wadde ng’ebitundu by’omubiri ebisiinga obungi bifudde.
Akolanga akulira eddwaliro lye Lubaga Dr.Grace Nanyondo agambye nti embeera y’obulamu bwa.Ssegiriinya eri mu katyabaga ak’amaanyi, wabula ng’abasawo tebanatuuka ku ssa limubika nti afudde.
“What I can say for now, is that Hon.Ssegiriinya is critically Sick, though we cannot declare him dead. He needs our love and prayers” – Dr.Grace Nannyondo
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi agambye nti bafunye essimu ebabikira okuva ewa Maama wa Ssegiriinya era nga yamulabirira mu ddwaliro gyajjanjabirwa, era nabo nebabikira eggwanga.
Ssennyonyi agambye nti wabula bwebatuuse mu ddwaliro ng’Omubaka akyali ku byuma mu kifo omujjanjabirwa abayi, abasawo nebabategeeza okubeera abagumiikiriza nti kubanga bakyalina entunnunsi gyebalondoola ku byuma.
Sipiika wa parliament Anitah Annet Among bw’abadde aggulawo olutuula lwa parliament okusoose mu mwaka 2025, agambye nti abasawo bamutegeezezza nti wadde ebitundu byonna eby’obubiri bifudde, nti wakyaliwo entunnunsi ezikyakuba era zebalina okugenda mu maaso nga balondoola, balyoke balabe ekiddako.#