Omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa era nga ye muwanika w’Obwakabaka asuubirwa okusoma embalirira y’obwakabaka bwa Buganda ey’omwaka 2023/2024 leero nga 25 September,2023, mu lutuula lw’olukiiko lwa Buganda.
Oluvannyuma embalirira eno yaakukubaganyizibwako ebirowoozo mu bukiiko bw’olukiiko obwenjawulo.
Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule,ategeezezza nti ebinaava mu Mbalirira y’Omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 byakwongera okuwa Buganda essuubi , ku ngeri emirimu gyeginaddukanyizibwamu.
Embalirira ey’omwaka ogugwako 2022/2023 yali buwumbi 157.8.
Okusinziira ku ntematema; okutumbula embeera za bantu b’omutanda omutemwa gwali gwa buwumbi 31.7, eby’obulamu nga mwemuli n’okusitula ku bizimbe by’amalwaliro mu Masaza obuwumbi 4.2, eby’obulimi obuwumbi 2.2, obuwangwa n’ennono obuwumbi 3.1.
Eby’okusiga ensimbi omuwumbi 22, okutumbula obwegassi obuwumbi 31.7, okutumbula bulungibwansi n’obutondebwensi obuwumbi 3.1, ebyemizannyo n’abavubuka, obuwumbi 2, ate okunnyikiza obukulembeze mu mirimu gy’obwakabaka obuwumbu 7.4.#