Bannauganda abakulu n’abato balaze Buddo SS omukwano betabye mu bungi mu kivvulu “Ffe Buddo”, era kwebajagulizza okuweza emyaka 25 nga bayimba ennyimba ezituula nezibukala ku mitima gy’abantu.
Essomero lya Buddo SS okuva mu 1999 bazze bayimba ennyimba ezisusuuta Omutanda Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II n’Obuganda bwonna okutwalira awamu, n’endala eziyigiriza ku bulamu obwabulijjo.
Buddo SS erina ennyimba nnyingi zirimu ebigambo ebisengeke obulungi era n’omudigido gwazo, bannauganda bangi nabo bazikuba budinda, era buli omu alina oluyimba olusiinga okumunyumira.
Kalema Kansiingyo wuuno, ekyuma ekitema ebyuma ebirala,
Ejjinja eryayasaayasa olwazi ye Nantaddwamu, amaaso ge gegarengera ensonga zetutasobola kulengera, Tatwagalizangako nnakuuuuuuu…….
Oli Maaso Mooji Musota,
Oli Kabwejumbira Bbaffe,
Oli Manda agamenya embazzi geegamu ate negajizaawo,
Oli Nnantalinnya Mukateebe, Empalabwa Mutaddibwamu Ssaabalongo Takubwa Mugongo eeeeh ………..
Tulina Ssaabasajja Tulina Empologoma ekitiibwa ekyo kyaava dda.
Katwagale nga Obuganda,
Ekitiibwa kyaffe mu ggwanga…….
Nnaabagereka Omulungi ekitalo Mwana wange ate nga yasoma nnyo,
Amaaso geego gebagamba agaliinga ettaala abaana ba Buganda abato ono ye maama gwetulinaaaaaaaaa……….
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa abadde omugenyi ow’enjawulo mu kivvulu kya Ffe Buddo ekibadde ku Serena hotel mu Kampala, atenderezza Buddo olw’okutumbula ebitone by’abaana, olulimi Oluganda nga bayita mu nnyimba.
Abamu ku babaddewo mu myaka gino 25 okuli Omukulu w’essomero lino Mw. Lawrence Muwonge, omuwandiisi w’ennyimba Paul Ssaka, abasomesa, n’abamu ku bayizi ababadde abasaale mu myaka 25 gya Buddo SS basiimiddwa era ne baweebwa emidaali.
Omuyimbi Ssanyu Cindy naye yoomu ku basanyusizza abantu mu kivvulu kino, era ng’ezimu ku nnyimba ze aziyimbye n’abayizi ba Buddo SS.#