Omuyimbi Eddiriisa Musuuza amanyiddwa nga Eddy Kenzo agambye nti nga yakalondebwa ku kifo ky’omuwabuzi wa president w’eggwanga ku nsonga z’obuyiiya obwenjawulo, agenda kutandikira ku kulwanirira ebitone by’abayiiya okulaba nti babifunamu ekiwera.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven yalonze Eddy Kenzo okubeera omuwabuzi we ku nsonga z’abayimbi n’abayiiya abalala.
Eddy Kenzo mu kwogerako ne CBS radio agambye nti wakusookera ku ensonga ya copyright okulaba nti abayimbi ne banakatemba bafuna mu byebakola.
Agambye nti wakukozesa ekifo ekimuweereddwa okutuusa eddoboozi lyabwe eri president Museveni ne bitongole byonna ebikwatibwako.#