Abaddukanya eddwaliro ekkulu ery’abakyala e Kawempe berwanyeeko ku byafulumidde mu lumu ku lupapula lw’amawulire ebyalaze nti waliwo abaana abawere 8 abaafudde, olw’amasannyalaze okuvaako nga bali ku byuma!
Ssenkulu w’eddwaliro lino, Dr. Byaruhanga Kayogoza Emmanuel mu kiwandiiko kyafulumizza, akakasizza nti ddala waliwo abaana abaafa nga 8 July, naye ebyabatta tebikwatagana na kuvaako kwa masannyalaze, nti kubanga nebwegaba bavuddeko balina Generator lugogoma 2 ezeenasula zokka.
Dr. Byaruhanga agambye nti eddwaliro lya bannakazadde eryo, lifuna abaana bangi abajjibwa mu mulwaliro amalala mu bitundu ebyetolodde Kampala olw’obuzibu bwebaba bafunye mu kuzaalibwa, nga bangi bazaalibwa tebanneetuuka n’abandi ng’obuzito bwabwe tebuyinza kubaganya kulama!
Amawulire gaabadde galaze nti abaana 8 baafudde olw’amasannyalaze okuvaako so ng’avunaanyizibwa ku by’okuteekako generator yabadde ayenjedde, omukulu abisambazze.
Agambye nti omuntu avunaanyizibwa ku masannyalaze g’eddwaliro abeerera ddala mu ddwaliro munda emisana n’ekiro, kyokka nti ku lunaku olwogerwako teewaaliwo buzibu bwonna bwakuvaako kw’amasannyalaze kubanga gaaliko era n’ebyuma byonna byali bikola kinnawadda.
#