• Latest
  • Trending
  • All

Ebyava mu bibuuzo bya PLE 2025 bifulumye – Minister w’ebyenjigiriza alabudde abasomesa abatayagala kukyuka na nkyukakyuka y’ebisomesebwa nti bawummule obusomesa

January 30, 2026
Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira

Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira

May 10, 2026

Abantu 6 bafiiridde mu kabenje akagudde e Gomba

May 9, 2026
Police ekutte 2 abagambibwa okumenya ekitebe kya Bank of Uganda mu Kampala – Laptop 2 zezaakazuulwa

Police ekutte 2 abagambibwa okumenya ekitebe kya Bank of Uganda mu Kampala – Laptop 2 zezaakazuulwa

May 8, 2026
Electoral Commission erangiridde olwa nga 24 June,2026 okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district y’e Kalangala

Electoral Commission erangiridde olwa nga 24 June,2026 okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district y’e Kalangala

May 8, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Abaluηηamya b’emikolo balambikiddwa ku ntambuza y’emikolo gy’ennono – bakomye katemba mu mikolo gy’okwanjula

May 7, 2026

Emipiira gy’empaka z’ebika by’Abaganda zongezeddwayo

May 7, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

May 7, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Bus ya kampuni ya Link ekutte omuliro neebengeya ku luguudo lw’e Mityana – abasaabaze basimattuse

May 7, 2026

Omwoleso gwa CBS PEWOSA 2026 – okuva nga 8 okutuuka nga 14 June mu Lubiri e Mengo

May 7, 2026
Abayizi ababadde bagenda okulambula bafunye akabenje e Kiryandongo – conductor wa Bus afiiriddewo

Abayizi ababadde bagenda okulambula bafunye akabenje e Kiryandongo – conductor wa Bus afiiriddewo

May 7, 2026
Government eyimirizza bus za kampuni ya Nile Star – sizaakusaabaza bantu okumala ennaku 30

Government eyimirizza bus za kampuni ya Nile Star – sizaakusaabaza bantu okumala ennaku 30

May 6, 2026
Omuyimbi Spice okuva e Jamaica akyaddeko embuga – wakuyimba mu kivvulu ekituumiddwa ‘Let’s get Spiced up’ okutumbula eby’obulambuzi bwa Uganda

Omuyimbi Spice okuva e Jamaica akyaddeko embuga – wakuyimba mu kivvulu ekituumiddwa ‘Let’s get Spiced up’ okutumbula eby’obulambuzi bwa Uganda

May 7, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Ebyava mu bibuuzo bya PLE 2025 bifulumye – Minister w’ebyenjigiriza alabudde abasomesa abatayagala kukyuka na nkyukakyuka y’ebisomesebwa nti bawummule obusomesa

by Namubiru Juliet
January 30, 2026
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
33
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Abayizi abatuula ebigezo bya PLE omwaka ogwayita 2025,baasinze kuyita ssomo ly’olungereza/oluzungu, nekudako essomo lya Science ne Math ate nga essomo lya SST lyebasinze okukola obubi, era nga wabaddewo okweyongerako mu kukola obulungi oluzungu okukira ku mwaka ogwa 2024.
Dan Nockrach Odongo, ssenkulu wa UNEB  agambye nti abaana abalenzi bakize ku bawala mu kuyita ebibuuzo, wadde abawala bebasinze nate mu kukola obulungi essomo ly’oluzungu ssonga abalenzi babakize mu masomo amalala gonna.
Alipoota ya UNEB ku bibuuzo, era nti ku bayizi abaatula ebibuuzo abaali emitwalo 807,313, emitwalo 91,990 bayitidde mu daala lisooka, emitwalo 388,296 bayitidde mu ddaala lyakubiri, emitwalo 165,226 baayitidde mu ddaala lyakusatu, ssonga abayitidde mu ddaala eryokuna bali emitwalo 84,724.
Abayizi emitwalo 77,080 ebibuuzo baabigudde, nga bano bakola ebitundu 10% ku muwendo gw’abayizi abaatula, ate abalala ekitundu 1.3% abakola omugatte gwabayizi omutwalo10,570 bbo wadde beewandiisa naye tebaasobola kubituula.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibuuzo eby’akamalirizo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board UNEB, kirumirizza nti abasomesa obutaagala kwongera kubaako bipya byebayiga ebyongera ku nsomesa y’abayizi, nti yeviiriddeko abayizi okukola obubi ebigezo by’ekibiina ekyomusanvu.
Dan Odongo, ssenkulu wa UNEB agambye nti abamu ku basomesa naddala abasomesa SST nebyediini, tebafuddeyo kukola kibasuubirwamu, omuli okunoonyereza n’okusomesa abayizi mu ngeri ebaagazisa amasomo ago.
Mungeri yeemu ne minister w’ebyenjigiriza n’emizanyo, era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga, Janet Kataaha Museveni, bw’abadde afulumya ebibuuzo bino mu maka goobwa president e Nakasero agambye nti kyenyamiza okulaba nti wakyaliwo abantu abenyigira mu muze gw’okubba ebibuuzo, era naalagira ab’ekikugu okunoonyereza ku kiviirako omuze guno okusigala nga gukula.
Janet Museveni era asabye abasomesa okwongera amanyi mu kubangula abayizi bategeere ebibasomesebwa basobole okugonjoola ebizibu byebasiηaana mu bulamu.
Minister Janet Museveni awadde amagezi eri abasomesa abataaga kwongera kuyiga ebikwata ku nsomesa empya, basaanye bawummule obusomesa.
Ebibuuzo by’abayizi abamu bikwatiddwa
UNEB egamba nti district okuli Kampala, Mukono, Kassanda, Kisoro, Namutumba, Buyende, Kaliiro, n’endala zeezimu ku zaasinzeemu abayizi abaakwatiddwa ebibuuzo byabwe era nga bikyanoonyerezebwako, ku bigambibwa nti benyigira mu kubbirira ebigezo.
Odong agambye nti akakiiko akavunanyizibwa ku byokwerinda by’ebibuuzo kakuwuliriza abayizi bewozeeko, abanaakamatiza nti tebenyigira mu bubbi byakuteebwa, ate  begunakka mu vvi bakusazibwamu.
Odongo agambye nti waliwo nabakungu ba UNEB, abakwatibwa ku by’okubbirira ebibuuzo, ng’abamu baali baguliriddwa.
District okuli eye Kyenjojo, Kabarole ne Bundibugyo zinokoddwayo mu zimu ku zaasinze okulwanyisa obumenyi bwamateeka buno.
Prof Celestino Obua, ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’ekitongole kya UNEB, agambye nti eggwanga likyalina ekizibu kyabatandisi nabakulira amasomero olw’okwenyigira mu kubba ebibuuzo, wadde bangi baakwatibwa.
Prof Obua agambye nti mu kiseera kino wakyaliwo emisango ejigenda mu maaso, era abantu 8 bebakasalirwa emisango mu kooti, kyokka nti n’ekizibu ky’abayizi abeewandiisa nebatalabikako nakyo kikyali kyamaanyi, wadde kigenda kikendeeramu.
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira
  • Abantu 6 bafiiridde mu kabenje akagudde e Gomba
  • Police ekutte 2 abagambibwa okumenya ekitebe kya Bank of Uganda mu Kampala – Laptop 2 zezaakazuulwa
  • Electoral Commission erangiridde olwa nga 24 June,2026 okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district y’e Kalangala
  • Abaluηηamya b’emikolo balambikiddwa ku ntambuza y’emikolo gy’ennono – bakomye katemba mu mikolo gy’okwanjula

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist