Akakiiko k’eggwanga akavunanyizibwa ku ttaka lya government aka Uganda Land Commission kamazeeko ababaka ebyewungula bwekategeezeza nti ku byapa by’ettaka 40, okutudde ebitebe bya Uganda mu mawanga amalala kalinako ebyapa 14 byokka ebirala tekamanyi gyebiri.
Andrew Nyumba akolanga omuteesiteesi era omuwandiisi wa Uganda land commisson asinzidde mu kakiiko ka parliament akalondoola ensonga z’amawanga amalala n’agaamba nti akakiiko kaafuna okusaba okuva eri ministry y’ebyettaka okwekeneenya ebitebe bya Uganda ebirina ebyapa, wabula oluvanyuma lw’okwekeneenya bazuddeko ebyapa 14 byokka.ku byapa 40.
Ababaka ku kakiiko kano ,era bakitegedde nti n’ekyapa okutudde ekitebe kya ministry y’ensonga z’amawanga amalala nakyo tekiriiyo mu kakiiko keggwanga ak’ebyettaka
Ebimu ku byapa ebitamanyiddwako mayitire ky’ekyapa okutudde ekitebe kya Uganda mu south Africa mu kibuga Pretoria wamu n’amaka g’omubaka wa Uganda mu ggwanga eryo.
Ssentebbe wakakiiko ka parliament kano Norah Bigirwa alagidde ministry y’ensonga z’amawanga amalala bakwatagane n’akakiiko k’eggwanga ak’ebyettaka mu bwangu, okufefeta ebyapa bino gyebiri.#