Bya Joseph Lukyamuzi
Wadde nga ba Namasole baatiibwa nga nnyo olwokulabika nga abatasalikako musale nga bakuumira batabani babwe ku Namulondo, wabula era bajjukirwa ng’abakyala abekisa era ab’omutima omugabi.
Omu ku bano ye Namasole wa Ssekabaka Danieri Basammula Mwanga II nga ye Nabakyala Abisagi Nakatya Bagalayaze. Namasole Bagalayaze ajjukirwa ng’omuntu wa bantu atasangika nga mu byafaayo yatonera Kereziya, Kanisa n’Obusiramu ettaka okwazimbibwa amasomero, amalwaliro n’amasinzizo.
Namasole Bagalayaze agalamidde Mpererwe mu Kawempe, ng’olubiri lwe luno lwakubibwa mu mwaka gwa 1816 ku mulembe gwa Ssekabaka Kamaanya. Namasole Bagalayaze yazaama mu mwaka gwa 1916.
Mu ngeri y’emu ba Namasole Abazaala ba Ssekabaka mu byafaayo bya Buganda, batono abafunye omukisa okubeera ba Namasole omulundi ogusukka mu gumu.
Mu bano mwemuli Namasole Namutebi eyali Nabakyala wa Ssekabaka Kateregga Kamegere. Ono yazaala ba Kabaka basatu omuli Ssekabaka Mutebi omubereberye, Ssekabaka wa Buganda owe kkumi n’abataano eyebasse e Kongojje mu Busiro.
Namasole Namutebi era ye Nakazadde wa Ssekabaka Juuko Mulwana, Ssekabaka wa Buganda owe kkumi n’omukaaga eyebasse e Bujuuko mu Busiro, ate era Namasole Namutebi ye yazaala Ssekabaka Kayemba Kisiki Ssekabaka wa Buganda owe kkumi n’omusanvu eyebasse e Nabulagala mu Busiro.
Namasole Nabulya Naluggwa yali mukyala w’Omulangira Musanje Golooba. Ono ye yazaala Ssekabaka Mwanga omubereberye Ssekabaka wa Buganda ow’a 23 eyebasse e Kavumba mu Busiro, ne Ssekabaka Namuggala Kagali Ssekabaka wa Buganda ow’a 24 eyebasse e Muyomba mu Busiro.