Ababaka ba parliament 22 boolekedde okufiirwa ebifo byabwe, ku bigambibwa nti ebifo byebakiikirira tebiriiwo mu mateeka.
Ku bano kuliko ababaka 10 abakiikirira ebibuga ku mutendera gwa Cities saako municipalities 12.
Bannakyewa aba Alliance for Finance Monitoring and Walezi wa Katiba Foundation, nga bakiikiriddwa munnamateeka Gawaya Tegule baddukidde mu kooti etaputa ssemateeka nga bemulugunya nti municipalities zirina kubeera wansi wa government ez’ebitundu, nga n’olwekyo teziteekeddwa kubeera na babaka mu parliament.
Bannyonyodde nti okusinziira ku ssemateeka w’eggwanga, ennyingo 78 akawaayiro (1), district zokka zezirina okubeera n’ababaka ba parliament abakyala sso ssi bibuga (cities).
Bannakyewa bano wamu ne Magelah Peter Gwayaka bagamba nti ebibuga ne municipalities byatondebwawo kutuusa mangu buweereza.ku bantu ba wansi, sso ssi kukiikirirwa mu parliament.
Mu mpaaba yabwe gyebatutte mu kooti, bagala eragire ababaka ba parliament bonna abakiikirira ebitundu ebyo ebiriko akabuuza, bagyibweyo mu parliament mu bwangu ddala.
Abamu ku babaka abagwa mu ttuluba eryo kuliko owa mukono municipality Betty Nambooze Bakireke, owa Nansana municipality Wakayima Musoke, Ritah Atukwasa owa Mbarara City n’abalala.
Ssenkulu w’ekitongole kya Alliance for Finance Monitoring Henry Muguzi agambye nti ababaka abo bonna 22 bawemmenta sente z’omuwi w’omusolo mu bifo ebitaliiwo mu mateeka.
Bisakiddwa: Betty Zziwa