Ebbago lino erikwata ku bakyala okuzaala abaana nga bakozeza technology, libadde mu kakiiko ka parliament akalondoola ebyobulamu nga kalyetegereza, era olwaleero akakiiko Kano lwekagenda okwanjula alipoota eyavudde mu kwekeneenya ebbago lino.
Mu bbago lino eryabagibwa omubaka omukyala owe Tororo, Satah Opendi ayagala muteekebweemu endagaano enakolebwanga wakati wooyo ayagala okumwettikira olubuto nooyo agenda okulwettika,
Bombi bateeke emikono ku ndagaano eyo nga bagitegedde bulungi nebigirimu, okwewala ennyombo n’okusika omuguwa okuyinza okubaawo singa enjuyi zombi ziremwa okukaanya ku by’omwana ng’azaaliddwa
Mu bbago lino era mulimu ennyingo ekwaata ku bakyaala abafuna enkwanso zabasajja okuva mu malwaliro nebazaala abaana nga tebamanyiddwako bakitaabwe.
Okusinziira ku mubaka Sarah Opendi enkola y’abakyaala okupangisa bakyala banaabwe okubeettikira embuto ensangi zino kikyaase nnyo , nga kino kyetaaga okulungamizibwa eggwanga okwewala ebizibu ebiyinza okubeerawo
Okukubaganya ebirowoozo okwawamu mu parliament kusuubirwa okutandika olwaleero nga 27 February,2025.#