Munna Republican John Donald Trump alayiziddwa nga president wa United States of America owa 47.
Trump olukubye ebirayiro naategeeza nti Katonda yamujjukidde era naamutaasa okuttibwa, n’amuwa ekisanja ekirala akomewo anunule America, aleete emirembe eri abantu bonna era abeere muzzanganda.
Agambye nti olunaku lwa 20 January,2025 lwakujjukirwanga mu America ng’olunaku olw’ebyafaayo era olw’okununula America mu mbeera zonna ezijifuula ensi kirimaanyi.
Agambye nti America nsi ngagga era erina okuddukanyizibwa nga Business ekula era ekuuma eby’obugagga.
Donald Trump aweze okufaafaagana n’abantu abenyigira mu mukwano ogw’ebikukujju.
“Okuva olwaleero, America yaakukkiriza ekikula ky’abantu kya mirundi ebiri gyokka; Omusajja n’omukazi”
Abaaliko ba President ba America okuli Barack Obama, George Bush, Bill Clinton ne mukyalawe Hillary Clinton beetabye ku mukolo guno ogw’okulayiza President Donald Trump mu Capitol Rotunda mu Washington DC.
Bannabyabufuzi mu America, abakulembeze b’amawanga, bannaggagga n’abantu abalala bangi betabye ku mukolo guno.
Donald Trump ekisanja ekyasooka, yakifuga nga president w America owa 45, era kyeyafuga kyokka naawangulwa Joe Biden.
Yazzeemu okuvuganya era naawangula omukyala Harris Kamala owa Democratic Party, owa Trump nafuuka presisent owa 47.#