Club ya URA egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League efuumudde abadde omutendesi waayo David Obua ku mulimu bamulanze kwolesa omutindo ogw’ekiboggwe.
David Obua yalondebwa ku butendesi bwa club eno mu November w’omwaka 2023 ku ndagaano ya mwaka gumu gwokka,yadda mu bigere by’omugenzi Sam Timbe.
Ekiseera ky’amaze ku mulimu guno, atendese URA emipiira 20, awanguddeko emipiira 8, akubiddwa emipiira 8 ate n’amaliri ga mipiira 4.
David Obua ku mulimu agobeddwa n’abamu ku babadde abamyukabe okuli Peter Byaruhanga Adyeri ne coach Kawa.
Robert Mukasa yakakasidwa okusigala mu mitambo gya ttiimu eno okutuuka kunkomerero ya season eno, agenda kuba ayambibwako Ilic Milosh, Allan Owiny, Robert Ssentongo ne Swaibu Ssebaggala.
David Obua URA egirese mu kifo kya 9 n’obubonero 31 mu mipiira gya liigi 23, ate nga mu mpaka za Uganda Cup bawandukira ku mutendera gwa ttiimu 32.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe