China eyongezza emyaka abakozi mu ggwanga eryo kwebalina okuwumulira ku mirimu okuva ku myaka 50 okulinnya ku myaka 55 , okukendeeza ku nsimbi z’akasiimo ezisasulwa abawumudde ku mirimu.
Kisaliddwawo nti abakyala bannyukire ku ,myaka 55, ate abasajja ababadde bannyukira ku myaka 60 kati balinnyisiddwa ku myaka 63.
China yeemu ku mawanga agalina emyaka emitono abakozi kwebawummulira okuva ku mirimu.
Okusinziira ku lupapula lwa government ya China olumanyiddwa nga Xinhua, omukozi mu China takirizibwa kuwuMmula mirimu ng’emyaka agiRambikiddwa teginatuuka, okuggyako ng’omukozi alina ensonga yessimba kwasinziira okuwummula.
Omukozi era aweeebwa omukisa okweyongeza emyaka emirala 3 gyokka , okudda okukola singa abeera ayagadde oluvanyuma lw’okuweza emyaka egyesalira.
Bikungaanyiddwa: Ssebuliba Julius