Ekitongole ki CBS PEWOSA kitandise okubangula abantu nokubatekateeka obuteetundako ttaka lyabwe, wabula okulyekozeseza okuvaamu ensimbi eziwera.
Mu nteekateeka eno baliko ebirime byebatandise okubasomesa okulima ebirime ebyettunzi okufunamu emmere y’okulya n’okutundako.
Ssentebe w’olukiiko lwa CBS Pewosa olukulakulanya abantu ba Ssaabasajja Kabaka Owek Kaddu Kiberu, atandise okulambula banna Cbs PEWOSA abategese okwegatta ku nteekateeka eno.
Owek Kaddu Kiberu asiibye mu ssaza Mawokota mu gombolola ya Mumyuka Kamengo ku Kyalo Funvu, enteekateeka eno gyetandikidde.
Agambye nti bakizudde ng’ abantu bangi balina ettaka naye tebalikozesezza kimala olwobutalambikibwa kimala, abasinga nebakomekkereza nga balyetunzeeko okufunamu ensimbi ezamangu.
Akinogaanyizza nti abantu bangi abaasikira ettaka wabula balitunze nebasigala mu mbeera eteyagaza,kyokka bebaliguza nebalimirako m’okusaako enkukakulana endala.