Radio ya Ssaabasajja Kabaka CBS fm 88.8 ne 89.2 Emmanduso ne BBS Terefayina ziweereddwa ejjinja ery’omuwendo okuva mu Rotary club ye Bbunga , olw’Okuwagira emirimu gy’enkulaakulana mu bantu wakati mu kwaagala.
CBS Radio ya Kabaka ejjinja lino erifunye oluvannyuma lwokuwagira entekateeka y’Okubunyisa amazzi amayonjo ku kyalo Ssebbobbo mu ntekateeka eyatuumwa Ssebbobbo community empowerment project ekisangibwa e Busunju.
Mu kunoonya ensimbi okudduukirira abatalina mazzi mayonjo bannarotary bateekawo akazannyo k’Okulya Ebyenyanja akatuumwa Bunga Fish Bonanza , nga wano CBS weyayita Okukunga abantu okusonda ensimbi okujuna abatalina mazzi mayonjo.
Ejjinja lino likwasiddwa Ssenkulu wa CBS Omuk Michael Kawooya Mwebe ne munnamateeka wa CBS Vivian Namale ejjinja ery’omuwendo ku Sir Jose Hotel e Ggaba.
President wa Rotary club ye Bbunga Paul Luyima yebazizza CBS ne BBS Terefayina olw’okufaayo ennyo eri abantu, naddala nga batuusa ensonga ezetaaga okukwatibwaako eri bekikwaatako.
Ssenkulu wa Radio CBS , Omuk Michael Kawooya Mwebe, agambye nti obuvujjirizi buno bwawebwaayo ku kiragiro kya Ssaabasajja eri CBS okukyuusa embeera z’abantu be mu ngeri yonna ebeera esoboka.
Ssenkulu wa BBS Terefayina Omuk Eng Patrick Ssembajjo nga akiikiriddwa omuweereza ku BBS era munna Rotary Mourice Mukiibi, yeeyamye okusigala ng’akwasizaako Banna Rotary okukyuusa Obulamu bw’abantu.
Abalala abaweereddwa Amajinja kubaddeko Fire masters ltd, Auto mobile Association of Uganda ,Fusion Eco resort hotel and Auto spa , Centenary Bank ne Crown beverages Ltd.
Bisakiddwa: Kato Denis