Ebbago ly'omubaka wa Mityana South Richard Lumu erigendereddwamu okukyusa engeri akulira oludda oluvuganya government mu parliament gyalondebwamu lisomeddwa omulundi ogusooka, nerisindikibwa mu kakiiko ka parliament ak'ebyamateeka kalyekenneenye. Ayagala akulira oludda...
Omubaka wa Nyendo-Mukungwe era Commissioner wa Parliament Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ayanjudde ennongoosereza z’ayagala zikolebwe mu Ssemateeka w’eggwanga. Mpuuga asinzidde ku Parliament mu lukungaana lwa bannamawulire n’alangirira ennongoosereza musanvu z’ayagala...
Ba kansala mu lukiiko lwa KCCA bakubaganye eⴄⴄuumi n'ensambaggere bwebabadde batudde mu lukiiko ku City Hall, okuteesa ku kasasiro afuuse ensonga mu kibuga ky'eggwanga ekikulu Kampala. Entabwe wevudde be ba...
Oludda oluvuganya government mu ggwanga lwabandiba lupondoose ku nnongosereza ezeetaagibwa okukolebwa mu ssemateeka w'eggwanga namateeka agafuga ebyokulonda mu ggwanga, ng'akalulu ka 2026 tekanatuuka. Abamu ku bakulembeze b'oludda oluvuganya government bagamba...
Akulira Ababaka ba FDC mu parliament era omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi, alangiridde nti mu bbanga lya wiiki 2 bagenda kufulumya enkalala z'abantu be bagenda okuwa kaadi za FDC,...
Sipiika wa Parliament ya Uganda Rt. Hon Nnaalongo Annet Anitah Among agambye nti government kisaanidde okussa oluguudo olw’enjawulo ku nguudo ez’olukale zonna okuwa omwagaanya ambulance okwanguya abalwadde okubatuusa mu malwaliro....
Ensonga z'ababaka ba Uganda mu mawanga amalala abaagobwa gyebuvuddeko olwa vulugu gwebenyigiramu, ministry yensonga zomunda mu ggwanga ezisindiise eri president Yoweri Kaguta Museven yaaba asalawo ekyokubakolera. Kliko Joy Ruth Acheng...