Omuwendo gw'abantu abakakasibwa nti baafiiridde mu kubumbuluka kw'ettaka mu bitundu bye Sebei, gwongedde okulinnya okutuuka ku bantu 19. Enkuba eyafudembye mu district ye Kween,Kapchorwa ne Bukwo yaviiriddeko ettaka okubuumbuluka neriziika...
Police ekutte omukulu wesomero amaze emyaka ebiri ng'anoonyezebwa ku bigambibwa nti yawa abayizi ba P.7 ebibuuzo eby'akamalirizo ebyekicupuli ng'abalimbye nti byali bivudde ku kitongole ky'ebigezo ekye ggwanga ki UNEB....
Abantu abampi ennyo mu kikula kyabwe abamanyiddwa nga bannakalanga oba Abambuti, batotodde okusomozebwa kwebayitamu mu ggwanga, omuli okusosolwa mu maka, okutulugunyizibwa mu by`omukwano, emirimu, ebyenjigiriza n'ebyobulamu, saako mu makubo gyebayita...
Mu kujjukira ameefuga ga Uganda omulundi ogw'e 63 ku kisaawe ky'ameefuga e Kololo, Bendera ya Uganda ezzeemu okuwanikibwa ng'akabonero k'okulaga ensi yonna, nti Uganda ggwanga eryetengeredde era lyefuga. Uganda yafuna...
Wabaddewo okusaba okwenjawulo n'okujjukira omugenzi Benedicto Kiwanuka, eyali Ssaabalamuzi wa Uganda eyasooka. Omukolo gubadde ku Pope Paul Hotel mu Ndeeba mu Kampala, gutegekeddwa ekitongole ky'Obwenkanya n'Eddembe eky'e Ssaza lya klezia...
Akakiiko ka parliament akekeneenya amabanja government geyagala okwewola era nga kekalondoola nebyenfuna byeggwanga, kayisizza okusaba kwa government okwewola ensimbi obuwumbi 772 okuva mu Standard Chartered bank Uganda, okutuusa amazzi amayonjo...